OMULAMUZI wa we ddaala ery’okubiri mu Kibuga kye Mbarara aliko abantu 5 baasingisizza omisango egyekuusa ku kukumansa kasasiro ku nguudo.
Omulamuzi Copan Muhanguzi yasingisizza omusango Linnet Tumwine 20, nga ono muyizi mu Mu ttendekero lya Metropolitan Internationala University, EvelynTushabe 33, omutuuze w’okukyalo Kasenyi mu Mbarara, Asuman Mwesigwa omutuuze mu Division ye Kakoba, Robert Bguma, ne Muhamade Ssentamu nga bonna batuuze mu kisenyi zone mu Mbarara.
Kitegerekese nti bano bonna nga ennaku z’omwezi 10 omwezi guno bakwatibwa lubona nga bakanyuga akasasiro ku mabbali ga makubo mu kibuga kye Mbarara, abakwasisa amateeka kye bagamba nti kyali kikontana n’amateeka ge kibuga ag’ebyobuyonjo.
Bano bonna omusango bagukkirizza era n’omulamuzi nagubasingisa, yadde nga waliwo bannaabwe 2 abakatiddwa ku musango gwe gumu bo ne bagwegaana, era omulamuzi nabasindika mu kkomera lye Kyamungorani okutuusa nga 23 omwezi guno balyoke bakomezebwewo mu kkooti.
Oluvanyuma omulamuzi alagidde abakkirizza omusango okusasula ensimbi 150,000 nga engassi, oba okusibwa mu kkomera emwezi mulamba, era nabawa amagezi okujulira mu kkooti enkulu bwe baba bawulira nga tebakkanyizza na kibonerezo kibawereddwa.
Gye buvuddeko abakulembeze be kibuga kye Mbarara baayisa amateeka g’ebyobuyonjo eri abakozesa ekibuga, wakati mu kwongera okuzimba ekibuga ekiri ku mutindo saako n’obuyonjo
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com