POLIISI ye Ggwanga nga eyambibwako ekitongole kya maggye ekikessi CMI baliko abantu 3 abagambibwa okwenyigira mu kuwamba saako n’okutugumbula omuwala Maria Nagiriinya saako ne Ddereva we Ronald Kitayimbwa wiiki ewedde.
Okusinziira ku mwogezi wa Poliisi mu Ggwanga Fred Enanga agamba nti abakwatiddwa kuliko n’omuntu eyalabikirako mu katambi akakwatibwa kkamera z’okunguudo nga ali mu ki jaketi ekimyufu nga avuga emmotoka ya Nagiriinya eyekika kya Spacio Modulo empya.
Enanga era agambye nti bano babakutte mu kiro ekyakesezza olwe sande bwe baabadde mu bbaala ya Bristol e Nateete mu Kampala.
Anyonyodde nti bano bwe babakunyizza babasanze ne kaadi ye ssimu ya Kitayimbwa, era nagamba nti bakyagenda mu maaso okusobola okubakunya babazuulemu obujulizi obulala obubaluma obutereevu.
Nagiriinya ne Kitayimbwa bawambibwa nga 28, 08, 2019, oluvanyuma ne bazuulibwa nga battibwa emirambo ne gisuulibwa mu bitundu bye Nama mu Disitulikiti ye Mukono.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com