Brian Kirumira amanyiddwanga Brian White, nga ono yamanyika nnyo gye buvuddeko olw’okumansa mansa ensimbi, ebigambo byongedde okumwononekera, Kkooti bwe muwadde ennaku 14 zokka wamu n’abakulira Kkampuni ye eya Bryan White Foundation beewozeko mu musango gw’ebbanja lya bukadde 135 ezaasigalayo bwe baamuguza zi weema.
Omulamuzi Anna Mugenyi owa kkooti enkulu etawulula enkayana z’ebyobusuubuzi mu Kampala yawadde ekiragiro eri Kirumira ne kkampuni ye okuteekayo okwewozaako kwabwe oluvannyuma kkooti etandiike okubatabaganya.
Ephraim Kirumira Majjanja nnannyini kkampuni ekola weema eya Majjanja & Sons e Kireka yalumiriza Bryan White okugaana okumusasula obukadde 135 bwe baali bakkaanya ezaali ez’okumukolera zi weema.
Majjanja yalaba embeera egaanyi kwe kuwalawala Brian White namutwala mu kkooti ye by’obusuubuzi, ng’omusango guli ku fayiro nnamba CS 137/19.
Nga October 13 2018 Bryan White ne kkampuni ye eya Bryan White Foundation ng’abayita mu agenti waabwe Muwanguzi basasula obukadde 135 era ne basuubiza okusasula ezaasigalayo obukadde 135 ne batandika okukola era mu nnaku ntono baali bamaze.
Nga October 24 2018 Majjanja yabawa weema zino era nga Muwanguzi ye yazinona nga tebannassa mukono ku kiwandiiko ekiraga nti bazifunye Bryan White ne Muwanguzi bazirambula ne bazekkennenya.
Era bwe bamala okuzirambula Bryan White ne Muwanguzi baategezza Majjanja nti ssente ezaasigalayo baakuzisasula mu wiiki emu yokka kyokka nakati bakyagaanyi okusasula ssente zino newakubadde babangirizza abanga ddene.
Yategezezza nti nga February 5 2019 Majjanja ng’ali ne banne bagenda mu kyalo e Busunju Kikandwa Mityana nga bagenze kubanja ssente kyokka babasiba busibi ku poliisi y’e Busunju oluvannyuma ne batwalibwa ku poliisi e Mityana gye babaggulirako omusango gw’okukozesa olukujjukujju ne bamuggyako ssente oluvannyuma gye babateera ku kakalu ka poliisi.
Nga Bryan White yekwasa nti omutindo gwa weema gwali mubi nnyo nti yaziteeka mu musana ennaku bbiri ne zitandika okuggyamu ebituli wabula fayiro bwe yatwalibwa ew’omuwaabi wa gavumenti okubawabula wabula nalagira bagiggale kuba omusango guggwa mu nsonga za ngassi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com