OMUKAZI Sylivia Muhangi 32 omusomesa era omutuuze mu Disitulikiti ye Rukungiri, nga ono yali asingisiddwa omusango era naasibwa emyaka 2 nga avunanibwa omusango gw’okusiiga mu bugenderevu omwana ow’emyezi 6 obulwadde bwa Mukenenya, kyadaaki yejerezeddwa naateebwa agende alye butaala.
Ono yali yajulira mu Kkooti enkulu e Gulu nga ayagala emujjeko ekibonerezo eky’emyaka 2 kye yali awereddwa.
Era nga yasaba nga asinziira ku nsonga zino, yagamba nti okumusingisa omusango tekwagoberera mateeka nga kwotadde n’obujulizi obwaletebwa oludda oluwabi, ye mundaba ye nga agamba nti tebwalimu ggumba, ate era nga n’omulamuzi yalaga kyekubiira mu nsala ye.
Omulamuzi Stephen Mubiru bwabadde awa ensala ye mu musango guno asazizaamu ekibonerezo eky’emyaka 2 ekyali kimuwereddwa nga agamba nti akizudde nti obujulizi obujulizi obwaleetebwa bwali tebumatiza bulungi, era nga bwesigamizibwa ku ngambo.
Yanokoddeyo ezimu ku nsonga nti omwana omuto singa yali akubiddwa empiso y’omusaayi ogutakwatagana na gugwe wandibaddewo obubonero obutali bwa bulijjo okulabisibwa ku mubiri gwe, ate nga ekyo tekyaliiwo mu kiseera we baagambira nti akubiddwa empiso.
Yayongeddeko nti omulamuzi eyasala omusango guno okusooka yakikola mu bukyamu, era nasinziira wano nalagira Muhangi omusango gumugibweko ate ne kibonerezo kisazibwemu, okujjako nga waliwo ensonga endala.
Muhangi olumaze okuwulira okusalawo kw’omulamuzi amagulu gamukutuse naagwa wansi era asituddwa abaselikale ba Makomera abamuwaniridde okutuusa lwazze engulu natendereza Katonda olw’obuwanguzi buno.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com