SSABALABIRIZI we kkanisa ya Uganda omuggya alondeddwa enkya ya Leero mu lusilika olutudde mu Kkanisa y’omutukuvu Paulo e Namirembe.
Alondeddwa ye Rt. Rev. Dr. Samuel Stephen Kazimba Mugalu abadde omulabirizi we Mityana.
Ono okulondebwa kiddiridde olukungaana lwa balabirizi okutuula era abalabirizi 37 ne bavaayo ne linnya lya Kazimba awatali kwesalamu.
Ono kati yadidde Ssabalabirizi Stanely Ntagali mu bigere nga ono amaze emya 8 nga addukanya emirimu gye kkanisa nga omukulembeze ow’okuntikko.
Mu kwogerakwe oluvanyuma lw’okulondebwa Ssabalabirizi Kazimba agambye nti mu kiseera kye nga ye Ssabalabirizi essira agenda nnyo kuliteeka ku bumu mu Kkanisa ya Uganda saako n’okugatta abakulisitaayo olw’enkulakulana.
Ono ye Ssabalabirizi ow’okubiri omuganda nga eyasooka ye mugenzi Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo.
Kazimba azalibwa mu Disitulikiti ye Buikwe mu Kyaggwe era nga eno Katonda gye yamusanga okulokoka.
Yatandika okubuulira nga omubulizi, nafuuka omwawule era nga yawerereza mu makkanisa mangi mu Bulabirizi bwe Mukono.
Kazimba okwongera okumanyika ennyo, gye mirimu gye yakola mu bulabirizi bwe Mukono naddala bwe yali mu kifo kya Dean wa Lutikko yabatukuvu Firipo ne Andereya E Mukono.
Ono era ajjukirwa nnyo olwe nkulakulana gye yaleka mu bulabirizi bwe Mukono omwali okuzimba ekizimbe ekimanyiddwanga Church House mu kibuga Mukono era nga kye kiliko ekitongole kya URA ekisolooza emisolo.
Era yakola nnyo okufunira abawereza entambula ekyali ekizibu ennyo mu bulabirizi mu kiseera ekyo.
Alina abaana 4 bonna balenzi n’omukyala Evelyn Naggayi Kazimba.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com