ABALABIRIZI b’e kkanisa ya Uganda bonna bali mu keterekerero nga balindirira okulonda Ssabalabirizi we kkanisa omuggya mu lusilika olugenda okutandikaolunaku lw’okusatu.
Abalabirizi 37 abali mu buweereza be basubirwa okubeera mu kulonda kuno wadde nga 33 be bakkirizibwa okusinziira ku Ssemateeka w’ekkanisa.
Omuwandiisi w’obussabalabirizi Can. Capt. William Ongeng yategeezezza nti abalabirizi bagenda kusunsulwa ku Lwokusatu okujjamu abana abatakkirizibwa kwesimbawo wadde nga bonna abali mu buweereza baakulonda.
Yagambye nti leero abalabirizi bonna bagenda kugenda mu lusirika era diini w’obussabalabirizi yagenda okubakulembera mu kusaba n’okusembera. Ono ye Mulabirizi w’e Kumi, Rt. Rev. Edison Irigei era nga yagenda okukubiriza olukiiko oluvannyuma mu kulonda obuyinza abukwase cansala w’obussaabalabirizi munnamateeka Barnabas Tumusingize
Byo eby’okwerinda binywezeddwa ku Lutikko e Namirembe wakati mu kwetegekera okulonda Ssaabalabirizi omuggya enkya (ku Lwokusatu). Ono agenda kudda mu bigere bya Ssabalabirizi Ntagali eyatuuzibwako mu 2012.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango yategezezza nti abaserikale baakutekebwayo leero ku makya okulaba ng’obukuumi bubeerawo okutuusa ng’okulonda kuwedde ku Lwokusatu. “Mmotoka zaffe ennawunyi n’abaserikale ba LDU bagenda kuba balawuna mu kifo kyonna okuva leero okutuusa enkya ku lunaku lw’okulonda okulaba nga tewali batataganya mbeera okutuukira ddala ku lunaku lw’okulonda.” Onyango bwe yayongeddeko.
Yagambye nti ku Lutikko tewali agenda kukkirizibwayo mu kaseera k’okulonda okuleka abalabirizi n’abakulu abalala abavunaanyzibwa ku by’okulonda era ng’oyo anaagezaako okukola effujjo oba okuwakanya ebiragiro wakukwatibwa.
Yategeezezza nti enguudo ez’enjawulo eziyita ku Lutikko zigenda kusigala nga zitambuza abantu wadde ng’abaserikale bakulondoola embeera yonna okulaba nga tewali kutaatagana mu nteekateeka zino. Baakukuuma ekifo emisana n’ekiro okutuusa ng’okulonda kuwedde.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com