MUNNAMAGGYE eyawummula Gen. Wasswa Kasirye Ggwanga ayongedde okutaama, nga ayita mu nkola gyabadde akolamu emabegako ey’okujjayo emmundu n’akuba emipiira gye mmotoka ezitwala emiti, nga agamba nti eno yeemu ku ngeri gyagenda okuyitamu okutaasa ebibira ebisanyiziddwawo abatema emiti.
Gen. Ggwanga agamba nti nga akyalina emmundu ye tagenda kutunula butunuzi nga abantu abaweebwa ettaka lye bibira okusimbako emiti ate nga be bamu ku bagitema ne bagitunda, nawera nti agenda kusanyaawo emmotoka zonna ezitambuza emiti okutuusa nga omuze guno gukomye.
Kinajjukirwa nti wiiki 2 eziyise Gen. Gwanga yalaalika abatuuze be Mubende ne Mityana nti tewabaawo eyetantala okutema ku muti gwa kalitunzi oba payini eyasimbibwa mu ttaka lye kibira kubanga etteeka terikkiriza kugitema nga yadde olumu abagitema be bagisimba.
Agamba nti bwe yalaba nga ebibira eby’asimbibwaa ate biggwawo kino kye kyamuwaliriza okugenda naagumba mu bitundu bye Mubende okusobola okusooka okukakkanya ku mbeera y’okusanyawo obutonde egenda mu maaso mu bitundu bino.
Ono yasooka naakuba amasasi loole nnamba UAW 232K eyali yeetisse emiti gya Kalitunsi, gye yasanga ku kyalo Kajogi mu Ggombolola ye Maanyi mu Disitulikiti ye Mityana, era nga kino okubaawo yali yakamala okulabula abatuuze ku muze gw’okutunda emiti egyasimbibwa okutaasa obutonde bwe nsi mu kitundu kyabwe.
Olunaku lwe ggulo Ggwanga eyabadde tasalikako musale era yalumbye abavubuka babadde batambuza emiti ku mmotoka ya loole nnamba UAR 234M nagezaako okubayimiriza kyokka ne bagaana, ekyaddiridde kwe kujjayo emmundu ye naagisindirira amasasi emipiira era abagibaddemu ne badduka okuyingira ensiko.
Yagambye nti abantu abawebwa liizi ku ttaka lye kibira bagenda ne beerabira nti baliweebwa kusimbako miti era baalina kulikozesa nga emiti gya Gavumenti egyasimbwako gikyali mito, nga bwe gikula teri muntu akkirizibwa kugitema kubanga bwogerageranya omuwendo kwe baalifunira buli yiika gwali mutono nnyo.
Yayongedde okuwera nti tagenda kussa mukono okutuusa nga akomezza omuze gw’okusanyawo obutonde bwe nsi era nagamba nti bwanamala okukakkanya ab’eMubende ne Mityana obwanga agenda kubwolekeza bitundu bya Mukono, Buyikwe, Kayunga ne Buvuma.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com