KKOOTI ye by’obusuubuzi enkya ya leero egobye omusango Bbanka enkulu gwe yawawabira omusuubuzi Sudir Rupaleria eyali nannyini Crane Bank.
Gye bwavaako Bbanka enkulu yali yatwala omusango mu kkooti ye by’obusuubuzi nga eyagala abalamuzi bakake Sudir Ruparelia ne Meera Investments Limited basasule obuwumbi 397 bwe bagamba nti yali yabujja mu bbanka ye mu bukyamu.
Kino kye kyavaako Bbanka enkulu okweddiza n’obuvunanyizibwa okuddukanya Bbanka ya Crane.
Wabula Omulamuzi David Wangutusi mu nsala ye agambye nti Bbanka enkulu teyalina buyinza kutwala musuubuzi Sudir mu kkooti, era nalagira Bbanka enkulu emusasule ensimbi zonna zayononedde mu musango.
Buno bwe buwanguzi obw’okusatu omusuubuzi Sudir bwatuuseeko okuva obutakwatagana bwe ne Bbanka enkulu bwe bwabalukawo.
Kinajjukirwa nti Sudir yasaba obuwumbi 28 okuliyirirwa olwa Bbanka enkulu okumenya endagaano saako n’okutwala Bbanka ye mu butali bulambulufu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com