Mukyala w’omusumba Aloysias Bugingo Teddy Naluswa Bugingo essira alitadde ku kugabana ebintu sso ssi kwawukana nga omusango ogwatwalibwayo bba bwe gugamba, okusinziira nsaba ye eri omulamuzi
Omusumba Bugingo gye buvuddeko yagenda mu kkooti e Kajjansi nga ayagala ebawukanye ne Mukyalawe Teddy, era naawa ne nsonga ze lwaki yali ayagala baawukane mu mateeka.
Teddy bwe yayitibwa mu kkooti yasaba omulamuzi Mary Babirye agobe omusango nti kubanga ye yali akyayagala bba era nga eby’okwawukana tabilowozaako.
Ekilala yali agamba nti balina eby’obugagga ebisoba mu buwumbi 2 ate mu mateeka kkooti ento ekoma ku misango gitasussa bukadde 50, nga kino kyewunyisizza omulamuzi Babirye.
Babirye yagambye nti ensonga eri mu ddiiro mu kiseera kino ya kuwulira nsonga y’okugattululwa wabula ensonga y’okutunulira eby’obugagga byabwe bye bakoze ejja kujja mu maaso nga bamaze okusalawo oba baawukana oba nedda.
Teddy ne ba Puliida be oluvanyuama lw’okuwulira ensalawo y’omulamuzi bagiwakanyizza ne bategeeza nti bagenda kujulira essaawa yonna okulaba ng’omulamuzi Babirye ensonga zonna azivaamu ziteekebwe mu kkooti entuufu erina okuwulira omusango guno.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com