PULEZIDENTI Yoweri Kaguta Museveni saako ne munne Paul Kagame owa Rwanda batadde emikono ku ndagaano okukomya obutakkaanya obubaddewo mu bakulu bombiriri.
Bino babituseeko mu nsisinkano ebaddewo mu ggwanga lya Angola era nga Pulezidenti wa Angola Joao Lourenco yabadde akubiriza akafubo wamu n’omukulembeze we Ggwanga lya Congo Felix Tshisekendi.
Oluvanyuma lwakafubo Pulezidenti Museveni akakasasizza ebibaddewo era nagamba nti ye ne Pulezidenti munne Paul Kagame endagaano bazitaddeko emikono, okusobola okuteekawo embeera ennungi mu by’obufuzi wakati wa mawanga g’ombiriri.
“Tukaanyizza ku bintu bingi era kigenda kutukakatako okubituukiriza ku lw’obulungi bwa mawanga gaffe ag’omuliraano, era nga ensonga egenda okutandikirwako ye y’ebyokwerinda, eby’obusuubuzi ne by’obufuzi, era ffe nga aba Uganda tugenda kulaba nga tutuukiriza endagaano eno” Museveni bwagambye
Pulezidenti Kagame naye akkirizza byonna ebibaddewo, nagamba nti bafunye omukisa okwogera ku bintu bingi era ne bategeera bingi ku ebyo ebibadde bitamanyiddwa, nagamba nti bagenda kulaba nga batuukiriza ebituukiddwako mu kafubo kano.
Kagame era ategezezza nti obutakkaanya obubaddewo wakati wa mawanga gonna bubadde bwetagisa buli omu kutegeera munne ne nkola za mawanga olwo ebintu biddemu bitambule bulungi.
“Ekyamazima Rwanda tuvudde wala ne Baganda baffe aba Uganda era obutategeragana obubaddewo bubadde ssi bungi naye nzikiriza nti kati byonna biweddewo” Pulezidenti Kagame bwagambye oluvanyuma lw’olukiiko.
Era ayogedde ku mbeera eyavaako okuggala ensalo ya Rwanda ne Uganda, nagamba nti yakimanya nti kyali kikosa amawanga gombiriri mu by’enfuna n’obusuubuzi naye kyali tekyebereka.
Enkolagana wakati wa Uganda ne Rwanda ebadde yasereba gye buvuddeko era nga kino kyavaako ab’eRwanda okuggalawo ensalo e Katuna nga kino kyakosa embeera y’ebyobusuubuzi, era nga Rwanda yali egamba nti abaseketerera Gavumenti yaabwe bali mu Uganda.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com