MUNNAKATEMBA w’ekibiina ekizannyi kya Katemba ekyatiikirivu mu Ggwanga ekya Ebonies Sulayina Nangendo amanyiddwanga Omumbejja Becky Jjuuko mu mizanyo avuddeyo ne yetondera e Ggwanga saako n’abakyala bonna olw’okubaswaza sabiiti ewedde, omuntu gwayogeddeko nti gwe yali asinga okwesiga obulamu bwe bwonna bwe yasasaanya ebifananyi bye nga ali bukunya.
Jjuuko asoose kukkiriza nti ddala kituufu ye muntu alabikira mu bifananyi ebyo, ne yetonda nti kino teyakikola na kigendererwa kyakuswaza baana bawala n’abakyala mu Ggwanga, wabula yali muganzi we emyaka 3 emabega, yeyabifulumya olw’ensonga ezitamanyiddwa.
Ono okwogera bino abadde akedde kweyanjula ku kitebe kya Poliisi mu Kampala, okwewozaako ku bifananyi bye eby’esittaza ebyasasanyizibwa ku mikutu gya mawulire wiiki ewedde.
Bwabadde ayogerako ne bannamawulire Nangendo agaanyi okwatuukiriza elinnya ly’omusajja agambibwa okusasaanya ebifananyi bino nagamba nti ensonga azikwasizza Poliisi ekole ogw’okunonyereza.
Oluvanyuma Nangendo yeyongeddeyo mu kakiiko akalwanyisa obuseegu mu Palimenti akakulirwa Dr. Annette Kezaabu Kasimbazi ne yeyongera okwetoowaza n’okwetondera abakyala, era nga eno awerekeddwako Sam Bagenda akulira ekibiina kya Ebonies.
Dr, Kasimbazi agambye nti tebagenda kumuggulako misango olw’ensonga nti alaze obwetowaze, nagamba nti bagenda kumutwala mu bifo awawummulirwa saako n’okubuulirira okwenjawulo asobole okukakkana.
Becky obwedda bino byonna aby’ogera nga amaziga gamuyunguka era alabise nga muboteevu nnyo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com