OMUYIMBI Emmanuel Nsereko amanyiddwa enyo nga munnaMasaka era nga abangi bamumanyi nga omuyimbi wa Museveni bwanyumya byayiseemu omuli n’okummibwa ebintu Museveni bye yamusuubiza mu lwatu tolema kwewunya.
Nsereko yawayizaamu n’omusasi wa Watchdog Uganda eyamusanze mu kabuga ke Seeta mu Mukono era nga eno gyawangaalira.
“Ndi musajja omusomesa omutendeke kyokka nga nyumirwa nnyo okuyimba era nga ekitone kyo si kwewaana nkirina, natandika okuyimbira Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu mwaka gwa 2010 wabula mu kiseera ekyo yali tammanyi nga omuntu wabula nasalawo okutwala obutambi bwange eri Hon. Ronald Kibuule abumutwalire era naye kye yakola.
Mu kusooka sasooka kutegeera nti omukulembeze we Ggwanga bye nayimba byamunyumira, nalabiraawo nga atandise okutegeeza Kibuule antwalenga ku mikolo gye yagendanga era nansaba muyimbiremu n’abantube.
Emirundi mingi namusembereranga era nga twogera buli lwe namusisinkananga, mu zimu ku nsisinkano nafuna omukisa ne ntegeeza Pulezidenti nti ensimbi zampa mu bbaasa nga musanyusizza kituufu nzagala nnyo era zinnyamba naye nali neetaaga nange ampe eddobo ntandike okwelobera ekyennyanja mu nnyanja naye kye yakkiriza era kyamusanyusa nnyo.
Wano mu mwaka gwa 2014 namusisnkana era ne mutegeeza nti nali netaaga okufunayo ebyuma ebikwata ennyimba nga bino byali byakunyambako nze saako n’abavubuka abayimbi abatalina sente zikwata nnyimba zaabwe ate nga ekitone kyokuyimba bakirina.
Era nagenda mu maaso ne musaba ne mmotoka nange mpone okutambuza ebigere saako n’okunyanguyanga okumutuukako bwe yabanga ampise ku mikolo okusanyusa abantu be.
Kino Pulezidenti kyamusanyusa era naayita eyali omuyambi we ow’okulusegere ekiseera ekyo Muky. Molly Kamukama naamutegeeza okukola ku nsonga zange mu bwangu.
Muky. Kamukama yandagira byonna byentegezezza omukulu, okubiteeka ku mpapula mu buwandiike nange kye nakola ekyaddirira yantegeeza nti abikwasizza omukulu avunanyizibwa ku bye nsimbi mu office y’omukulembeze we Ggwanga Muky. Lucy Nakyobe.
Mu mwaka gwa oguwedde nagezaako ne ntukiirira Muky. Nakyobe era nantegeeza nti nali wakufunira ensimbi mu mbalirira ye byensimbi eya 2017, okuva ku olwo ngezezaako okumutuukirira naye nga nsiwa nsaano ku mazzi.
Gye buvuddeko nafuna omukisa ne nsisinkana Pulezidenti bwe yali agenze e Mukono okuggulawo ekkolero lye mifaliso mu kkampuni emanyiddwanga Tian Tanga, bwe namuyimbira nampita nambuuza oba ebyange nabifuna, ne muddamu nti sibifunanga nangamba nti nkwatagane ne Mukyala Nakyobe.
Mubutuufu simanyi lwaki ebintu byange bigaanye okumpeebwa, kubanga ndaba abalala babawa ate nga ffenna tukolera Muzeeyi, sigamba nti oba banange abalala tebabawa naye njagala obwenkanya bubeewo mu ngaba ye bintu Muzeeyi byagabira abantu okubasiima.” Nsereko bwe yagambye.
Yagambye nti agenda kufuba ekyetagisa okulaba nga abakulu mu offiisi ya Pulezidenti bamuwa ebintu byonna nga bwe yabisuubizibwa Omukulembeze kubanga alina eddembe lye okubanja byalina okufuna.
Kawefube wa WatchDog okwogerako n’akulira ebyensimbi mu offiisi y’omukulembeze we Ggwanga Mukyala Lucy Nakyobe agudde butaka olw’essimu ze obutakwatibwa.
Nsereko ye yayimba ennyimba okuli Bus mpulira etokota, Ttaata museveni wefugire, ne ndala nnyingi, ono ebiseera ebisinga Pulezidenti bwaba mu kitundu kya Buganda alabibwako nga ayimba ennyimba eziwaana n’okusuuta omukulembeze we ggwanga ku mikolo gyabeerako.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com