ABAWAGIZI b’omukulembeze we kisinde kya People Power era nga ye Mubaka wa Kyadondo East mu Palimenti Robert Kyagulanyi Ssentamu, batandise okwelumaluma nga bagamba nti mukama waabwe asinga nnyo kukolagana n’abawagizi ba kibiina ekiri mu buynza ekya NRM, era ne babaako abantu bebanokolayo ne bibakwatako.
David Rubongoya ono y’akolanga omuteesiteesi omukulu owa kampeyini za Bobi Wine era nga yasomesebwa maka g’abwa Pulezidenti okutuusa bwe yamala emisomo gy’obwa Puliida.
Andrew Karamagi, akolanga omuwabuzi wa Kyagulanyi ku by’amateeka, bamuzaala mu Disitulikiti ye Ntungamo ku kitundu kye kimu gye bazaala Barbie Itungo mukyala wa Kyagulanyi naye era yasomesebwa Maka ga Pulezidenti.
Ben Katana, Ono munnamateeka era nga yakola nga omuwabuzi omukulu owa Bobi Wine, era nga amanyiddwa nnyo okubeera mu kibinja kyabavubuka ba NRM abato era nga muwagizi wa Pulezidenti Museveni lukulwe, yasomesebwa maka g’abwaPulezidenti.
Sherif Najja. Ono amanyiddwa nnyo nga omu ku bakunzi ba NRM lukulwe, era nga kati akolanga omuyambi wa Bobi Wine ow’okulusegere.
Hon Zaake Butebi Francis . ye Mubaka wa Munisipaari ye Mityana era nga mukwano gwa Bobi Wine ow’okulusegere, mu kujja mu by’obufuzi bazadde be baali basazeewo ajjire mu kibiina kya NRM kubanga famire ye kye kibiina kye bawagira okuva edda, kyokka bwe baatya obuvuyo obubeera mu kamyufu k’ekibiina kyabwe kwe kusalawo omwana waabwe bamulete nga talina kibiina okusobola okuwangula emitima gya bannaMityana.
Hon. Gafa Mbwatekamwa, ono ye mubaka we Ssaza lye Kasabya mu Mubende era nga mu People Power ye mukwanaganya we kisinde kino mu kitundu kya Ankole, okujja mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu yajjira ku kaadi ya NRM kyatatera kwegaana.
Hon. Nsamba Oshabe Patrick. Ye mubaka we Kassanda mu Busujju okuva edda ne famire ye bawagizi ba kibiina ekiri mu buyinza era abamu ku bagandabe mu kitundu kye kassanda beebakulira ekibiina kya NRM nga ne mu kujja mu Palimenti ali ku kaadi ya NRM.
Hon. Barnabas Tinkasiimire, ono ye mubaka wa Buyaga mu Palimenti eranga yakwataganya ekitundu kya Bunyoro mu kisinde kya People Power, ali ku kaadi ya NRM mu Palimenti, kigambibwa nti ono yawererwa maka ga bwa Pulezidenti era nga yasooka kukolera mu offiisi ya mukyala wa Pulezidenti.
Joel Senyonyi, Ono ye mwogezi wa People Power, era nga ava mu famire y’abawagizi ba NRM lukulwe okuva mu kitundu kye Nakasongola, era mutabani w’eyaliko Ssabawolereza wa Gavumenti Peter Nyombi.
Mu bano abasing kubo basomera ku basale eziwebwayo amaka g’obwaPulezidenti, era nga bava mu maka amawagizi ga NRM, kino kireesewo abamu ku ba People Power okwesikamu nga enjogera ye nnaku zino, nga bagamba nti omukulu abantu baasinga okwesiga balabika balina akakwate akamaanyi ku kibiina ekiri mu buyinza.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com