AB’ENZIKIRIZAy’obuyisiraamu mu Ggwanga lyonna bajjumbidde okusaala Eid Aduha era nga emizikiti gyonna gijjudde ne gibooga.
Eid eno nga era kwe kubeera n’okusala ebisolo nga akamu ku bubonero obulaga obwetoowaze Jjajja ffe Ibrahim bwe yalina eri Katonda bwe yasalawo okuwaayo omwana we omu yekka gwe yali alina Ismael nga ssaddaaka eri katondawe, kyokka Mukama n’amweyoleka n’amulaga endiga gyaba awaayo nga Ssaddaaka.
Okuva olwo olunaku luno lukuzibwa mu Nsi yonna okujaguza obuwanguzi Nabbi Ibrahim bwe yatuukako olw’obukkiriza bwe yalina eri Katonda we.
Ku muzikiti omukulu ogwa Kampala mukadde okusaala kukulembeddwamu Mufuti wa Uganda Sheik Ramathan Mubajje nga ono akubirizza abayisiraamu okufaayo ennyo ku by’okwerinda byabwe mu makubo gye batambulira, mu maka gaabwe wamu n’abaana baabwe kubanga abatemu beesomye okubasaanyawo ennaku zino.
Mu muzikiti omukulu mu kibuga kye Mukono akulembeddde okusaala Eid era nga ye Disitulikiti Kaazi Sheik Sazir Lumala alaze obwetaavu eri abagagga okuvaayo bayambeko ku banaku, kyagambye nti kya buvunanyizibwa kubanga Katonda yabawadde olwesonga nti balina obusobozi okuyambako abalala.
Abayisiraamu ab’enjawulo bawaddeyo ebisolo omuli Ente ne mbuzi bisalibwe bigabulwe abatalina mwasirizi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com