OMULABIRIZI wa West Buganda eyawummula Kitaffe mu Katonda Keefa Kamya Ssemakula asabye abakulisitaayo okufuba okwewayo okukola emirimu gya Mukama olwo naye akole ebyabwe bye baba bamusaba entakera.
Omulabirizi Semakula okwogera bino yasinzidde mu kkanisa ye kyabalesa mu gombolola ye Lugusuulu mu Sembabule bwe yabadde abakyaliddeko,
yagabye nti yewunya abakulisitaayo abatayagala kukolera katonda ate nga beerabidde nti bye baliina byonna ebibeyagaza ye yabibawa era nga yasazeewo kubibajjako kubitwala nakataayi tekasala.
Yabakubirizza nate okufaayo okuyamba banaabwe abali mu mbeera eteyagaza, nagamba nti ediini entuufu buli muntu kwagala munne nga bwe yeyagala. Nasaba bulyomu abeeko gwayamba kubanga katonda kyayagala munsi munno.
“Banange bwe munakola ebyo tewali kuwanaanya mukama ajja kubomngerako ku bye mulina kubanga alina bingi era yetegese okubiwaako abo abakolaa byayagala” Bishop Kamya bwe yagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com