OMULABIRIZI wa West Buganda Kitaffe mu Katonda Henry Katumba Tamale akangudde ku ddoboozi eri abawereza mu makkanisa abalekawo obuwereza ku lunaku lwa Mukama waffe ne basalawo okwetaba ku mikolo egiba gitegekeddwa mu bitundu gye bawerereza, nagamba nti kye balina okukola kwe kuwereza saako n’okuliisa endiga ekigambo kya Katonda.
Bishop Tamale agamba nti abadde amaze ebbanga nga awulira okwemulugunya okuva mu Bakulisitaayo mu kitundu kyatwala, nga bwe waliwo abawereza mu kkanisa okuli ababuulizi saako n’abasumba abasuulawo amakkanisa ku lunaku lw’okusinzizaako olwe mikolo egiba gitegekeddwa mu bitundu gye bawerereza, oluusi ekileetawo abakulisitaayo be nnyini okwekolamu omulimu ne bakulembera okusaba kye yagambye nti ssi kyabuvunanyizibwa eri abawereza ba Mukama.
Bp. Tamale okwogera bino yabadde mu kkanisa ye Kabundi mu bu ssabadiikooni bwe Sembabule.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com