Ennaku zino ba Minisita bonna bali ku bunkenke nga balindirira ekigenda okuva ew’omukulembeze we ggwanga mu kiseera kino ali ku faamu ye e Kisozi mu Gomba.
Pulezidenti Museveni olunaku lw’okubiri yabiteekamu engatto nayolekera faamu ye e Kisozi, nga kigambibwa nti yagendayo awummulemu engeri gyali nti amaze ebbanga ddene nga atambula okwetoloola eggwanga lyonna.
Museveni yatandika okutambula eggwanga gye buvuddeko era nga yasookera mu mambuka era nakomekkerereza mu maserengeta, eno yali agenda asomesa enjiri eya bonna bagaggawale saako ne nnyingiza mu maka nga emu ku nkola zayagala okutandika okunyikiza mu bannaUganda mu kawefube we ow’okujja abantu mu bwavu gwaliko kati.
Mu kawefube ono era agenze asisinkana abakulembeze ku buli mutendera mu bitundu gyabaddenga agenda era nga eno ba kkansala okuva mu buli gombolola, ba kkansala ba zi Disitulikiti, ba Ssentebe ba magombolola gonna mu ggwanga n’aba NRM, obukiiko bwa NRM ku zi Disitulikiti, ba Ssentebe ba zi Disitulikiti zonna mu Uganda saako n’ababaka ba Palimenti babadde bamusisinkana era ne bamubuulira ebiluma abantu be bakulembera.
Bano babadde tebakoma kukumusisinkana kyokka wabula babadde basanga yabategekedde eby’assava saako n’ekebazza mu nsawo akategerekeka, era nga babadde bavaayo teri atoma yadde ab’oludda luvuganya Gavumenti.
Okusinziira ku bigambo ebibadde bimugambibwa abakulembeze olumu abadde alabika nga simusanyufu na bigenda mu maaso mu bitundu gyabaddenga alambula, anti asanze pulogulaamu za Gavumenti nnyingi tezitambudde nga bwabadde asuubira okusinziira ku bigambo ebibadde bimugambibwa.
Enkola ya bonna bagaggawale gye yateekamu ensimbi empitirivu awamu abadde atuukayo nga tetambudde bulungi era eno abadde olumu akangula ku ddoboozi era n’atabukira be kikwatako.
Wabula bannaNRM gyabadde nga ayitira babadde bawanika ebipande ebimusuuta saako n’okumusaba akomewo yesiimbewo ku bwa Pulezidenti nga teri amuvuganyizza mu kibiina.
Kyokka nga ebyo byonna obitadde ku bbali bannaUganda babadde balinga abeerabira nti mu buli kisanja ekyemyaka 5 ekiweebwa bannaUganda Pulezidenti akyusizaamu ba minisita emirundi 2, nga kino kivudde ku kuba nti kuluno aluddewo okubakyusa, nga eggwanga lyetegekera okulonda okugenda okujja mu 2021 ate nga n’olukungaana ttabamiruka w’ekibiina kya NRM alabika nga asembedde, buli Minisita ennaku zino atuula bufofofo olwebiyinza okuddirira, nti kubanga mu byafaaayo buli Pulezidenti Museveni bwamala okulambula eggwanga nagenda e Kisozi avaayo amaze okukyusa Kabinenti.
Ensonda zigamba nti Pulezidenti Museveni ke yayorekedde e Kisozi ajja kuvaayo nga amaze okulangirira Kabineti empya gyagenda okukola nayo mu bbanga elisigadde nga tanaddamu kunoonya kalulu, era nga kigambibwa nti kuluno bangi baakukyusibwa nabandi okugobwa.
Ssi ba Minisita bokka be bali ku bunkenke wabula ne kiri e Kyadondo ku ggwandisizo ekkulu ely’ekibiina ekiri mu buyinza nayo kika, eno nayo batuuza ya lukugunyu kubanga obukulembeze obuliyo ssawa yonna bukyusibwa okusinziira ku bubonero obuliwo.
Ebifo ebiteberezebwa okukwatibwako mulimu ekya Ssabawandiisi we kibiina, Omuwanika n’omumyukawe saako n’akakiiko ke by’okulonda.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com