MINISITA we by’obulamu Jane Ruth Achenge, Omuwandiisi owenkalakkalira mu Minisitule y’ebyobulamu Diana Atwine saako n’ababaka abali ku kakiiko akaloondoola eby’enfuna bye Ggwanga olwaleero baganiddwa okuyingira mu kikomera awazimbibwa eddwaliro eppya e Lubowa ku luguudo lwe Entebbe.
Bano ababadde bakulembeddwamu Ssentebe w’akaiiko Saida Bbumba saako ne babaka banne okuli William Nzoghu, Andrew Baryanga saako ne Thomas Tayebwa bonna babaddeko.
Bwe batuuse ku kikomera abaselikale ne babategeeza nti babadde tebalina mugenyi yenna gwe basuubira, era ne babalagira obutetantala kuyingira.
Munda mu kikomera mubaddemu abaselikale be bitongole by’obwanakyewa saako nababadde bambadde engoye za LDU, kyokka nga emirimu gy’okuzimba gigenda mu maaso.
Wano Minisita Acheng n’omuwandiisi we nkalakkalira mu Minisitule y’ebyobulamu Diana Atwine bagezezzaako okukonkona baggulirwewo naye nga basiwa nsaano ku mazzi.
Acheng ategezezza abamawulire baagenze nabo nti, ekikolwa kino kyandiba nga kivudde ku bbaluwa omuwandiisi we nkalakkalira mu Minisitule y’ebyensimbi Keith Muhakanizi gye yawandiika nga ategeeza omumyuka wa Sipiika Jacob Oulanya nga bwe batagenda kukkiriza babaka kukyalira kifo kino awazimbibwa eddwaliro.
Muhakanizi yategeeza nti engeri Gavumenti gye yawa edda kkampuni ya FANASI/ ROKO omulimu gw’okuzimba eddwaliro lino nga n’olwekyo ababaka tebalina beetu kusalimbira mu kifo ekyo.
Acheng anyonyodde nti abadde yayitiddwa Ssentebe wa kakiiko, kyokka era nagamba nti kituufu waliwo ebitagenda bulungi mu mulimu guno ebyetaaga okutunulwamu biterere, nti naye ekikolwa ekikoleddwa nakyo tekibadde kilungi.
“Ensonga zino nazitwala dda mu lukiiko olukulu era mmanyi nti ababaka bajja kulaba ekyokukola, silowooza nti eky’okutugaana okuyingira kilina we kigootanyiza omulimu gw’okuzimba kyemanyi nti okuzimba kugenda bulungi mu maaso kasita abazimbi webali mu kifo.” Acheng bwagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com