MUNNAMAGGYE eyaganyuka Gen. Henry Tumukunde awabudde nti kirabika kye kiseera abantu nga Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga nabalala abakoleddeko e Mengo okuyingira Gavumenti eyawakati, nabo baweebwe omukisa okukulembera ku Uganda eyawamu.
Tumukunde agamba nti aludde ekiseera nga agoberera enkola ya ba Minisita be Mengo saako ne bakatikkiro ababaddewo, era nakizuula nti bantu bakozi nnyo abayinza okubaako kye bongera ku Uganda eyawamu singa baba bawereddwa omukisa okwenyigira obutereevu mu mirimu egiyamba abantu ba Uganda yonna.
Okwogera bino Tumukunde yabadde akyaziddwa ku ttivvi ya Bukedde mu kiro ky’okummande mu Pulogalaama ya Kabbinkano ewerezebwa munnakyalo Charles Kaloori Sserugga Matovu, nga wano we yasinzidde nagamba nti abantu bangi bakola emirimu gyabwe egiyamba ennyo abantu ba bulijjo, nagamba nti ssinga bawebwa omukisa okuwereza mu Gavumenti bayinza okukola obulungi.
“Nzize ngoberera nnyo Katikkiro Mayiga, omugenzi Kaaya Kavuma n’abalala, mbalabye nga bantu balungi, bakozi, bafaayo ate ye Kaaya Kavuma abadde mugabi, abantu bano bwe bati singa nabo bakwasibwa obuvunanyizibwa kilabika bayinza okuyambako ennyo.” Tumukunde bwe yagambye.
Ku ky’okwesimbawo ku bwa Loodi Meeya Tumukunde yagambye nti ennaku zino ali mu kukola kunoonyereza okulaba oba abantu be Kampala bamugula okubakulembera, nti era bwanaaba amaze okubebuuzaako ajja kuvaayo abuulire eggwanga ekiddako.
Yagambye nti yetoolodde ekibuga kyonna era nazuula nti alina emirimu mingi egy’okukikolamu ssinga aba akwasiddwa obuvunanyizibwa okukikulembera, gino mulimu okwongera okukola enguudo okwongera ku ezo Jenifer Musisi ze yakola.
Okutekateeka ebifo abatembeeyi we bakolera nga ssi bantu kuva gye bavudde ne babagoba nga tewali ayamba, nga kwotadde n’okukendeeza ku ffujjo elikolebwa abaselikale ba KCCA okuli okutulugunya nga kwotadde n’okutwala ebintu bya batembeeyi ne basigala nga bakaaba.
Okutekawo enguudo eziliko abantu be bigere we batambulira yagambye nti nayo nsonga nkulu, kubanga kye kimu ku bisinga okukalubiriza abantu okweyunira ekibuga kubanga abasinga batomerwa ebidduka kubanga bakozesa enguudo zezimu ne bidduka.
Okugaziya ekibuga, Tumukunde Yagambye nti bwotunuulira ebbanga eliriwo wakati wa Kampala ne Mukono nga oyitidde e Ggaba kumpi nnyo nga bwe waba watereddwawo olutindo olugatta nga luyita ku mazzi kijja kuyamba nnyo abasuubuzi abavu mu byalo okweyunira ekibuga okusobola okutundayo ebyamaguzi byabwe.
Eby’okwerinda, Yakinoganyizza nti ye Kafuru mu kunoonyereza ku bumenyi bwa mateeka saako n’okubulwanyisa, nagamba bannaKampala nti ebyo bajja kubimurekera kubanga amanyi eky’okubikolera era ebbanga lyonna azze abikolako, naddala nga okunonyereza kwe kuwedde.
” Nze abantu bangi batera okunyooma naddala nga nkwasiddwa obuvunanyizibwa naye munange oluvanyuma bakkiriza nga mbutuukirizza, bwe neesimbawo mu CA ewaffe e Rukungiri bangi banyooma nga bagamba nga bwe nali nkyali omuto naye gye byaggwera nga mbawangudde, kale sisobola kugenda mu kintu nga simaze kupima era baannaKampala bwe banalaba nga neesimbyewo bamanye nti nja kuwangula.
Ku kye kibiina mwe ngenda okujjira ekyo nakyo nkyakinoonyerezaako, nyinza okujja nga ndi wa NRM, DP oba nga silina kibiina mu kiseera kino ebyo byonna byenkyatunuulira” Gen. Tumukunde bwe yagambye.
Olw’okaano lw’obwaLoodi Meeya singa Tumukunde alangirira lugenda kubaamu abantu abasoba mu 5, okuli aliko kati Erias Lukwago, Omubaka wa Kawempe North Latiff Sebaggala, omubaka omukyala owa Kampala Nabilah Naggayi Ssempala nabalala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com