POLIISI mu Kampala ekutte omusuubuzi we byuma bya Pikipiki agambibwa okuba nti yabadde amaze ebbanga nga agula Piki enzibe okuva ku muvubuka Derrick Muwonge amanyiddwanga Young Mulo ne banne abaakwatibwa gye buvuddeko.
Jimmy Kayirimuko nga ono alina edduuka ly’ebyuma bya Boda mu kibuga kye Katwe yakwatiddwa, oluvanyuma lw’abebyokwerinda okutemezebwako abazira kisa nga bwe yabadde aliko we yekwese wamu ne mukwano gwa Young Mulo Edward Nuwamanya nga naye abadde anoonyezebwa.
Omwogezi wa Poliisi Fred Enanga agambye nti okutuuka ku dduuka lya Kayirimuko kyadiridde ebyuma bya poliisi ebinoonyereza okusonga ku dduuka lino bwe baabadde banoonya Boda Boda nnamba UEW 256G eyali ey’omugenzi Damiano Sekalala eyattibwa mu bitundu bye Makindye gye buvuddeko, era piki ye nebuzibwawo.
“Kati Kayirimuko agenda kugattibwa ku fayiro okuli Young Mulo ne banne abaggulwako ogw’obutemu bwa bantu abawerera ddala 8” Enanga bwe yagambye.
Yategezezza nti mu kawefube ono era basobodde okuzuula abantu abattibwa okuli Abdullah Nsubuga eyattibwa nga January 21 omwaka guno mu zooni ya Kizungu e Makindye, Damiano Sekalala naye yattibwa nga 24 ogw’okuna 2019 e Makindye, Godfrey Nkata, yattibwa nga 3 ogw’omukaaga , Emmanuel Gatete yattibwa nga 13 ogw’okusatu ku luguudo lwe Salaama mu Makindye wamu ne Tom Wamala eyattibwa nga 2 ogw’okuna omwaka guno.
Bano bonna battibwa mu ngeri yeemu era zonna pikipiki zaabwe tezaddamu kulabikako.
Wiiki ewedde Poliisi mu bikwekweto bye yakola yazuula ennamba 55 mu bitundu ebyenjawulo mu ggwanga nga kiteberezebwa okaba nti bannanyini zo bonna battibwa.
Akulira ekitongole ekiketta munda mu ggwanga col. Kaka Bagyenda yategeeza nti ekibinja ky’ababbi ba Boda Boda kinene okwetoloola eggwanga lyonna, nti era bwe bamala okuzibba mu Kampala zikukusibwa ne zituusibwa mu kibuga kya Arua nga eno gye ziva ne zitwalibwa mu ggwanga lya Congo gye zitundibwa ne zibulira ddala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com