POLIISI ye Ggwanga eweze omuntu yenna okuddamu okuleeta amaccupa mu kkooti, saako ne ngoye ezilaga ebibiina bye bawagira.
Kino kidiridde ebyaliwo mu kkooti ku lw’okuna lwa wiiki ewedde omu ku bawagizi ba Stella Nyanzi bwe yakasukira omulamuzi Gladys Kamasanyu eccuppa ya mazzi ku mutwe bwe yali asoma ensala ye mu musango gw’okukozesa obubo kompyuta oguvunanibwa Stella Nyanzi.
Bwabadde ayogerako ne bannamawulire mu lukungaana lwabwe olutuula buli mande ku kitebe kya Poliisi e Naguru, omwogezi wa Poliisi Fred Enanga agambye nti ekikolwa ekyakolebwa mu kkooti munda kye kiviriddeko ekitongole kya Poliisi okusalawo enkola eno, mu mbeera y’okwongera okunyweza eby’okwerinda eri abalamuzi.
“Wangendanga kubaako okwekebejja okwamaanyi ku miryango gyonna egiyingira amakkooti ag’enjawulo, saako ne ku miryango gye bisenge bya Kkooti okusobola okulaba nga tewabaawo muntu noomu ayingira na ccupa yonna saako engoye eziwaana ebibiina by’obufuzi.
Bino tukizudde nti bye bivuddeko ebikolwa ebityoboola abalamuzi saako n’abantu okugaana okwefuga” Enanga bwe yagambye.
Ku lw’okutaano oluwedde ne Ssabalamuzi Bart Katuleebe yavaayo navumirira ekikolwa ekyakolebwa abantu mu kkooti nagamba nti ebikolwa ebyo tebagenda kubikkiriza.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com