PULEZIDENTI Yoweri kaguta Museveni olwaleero asazeewo okutuukiriza ekisuubizo kye yawa abasomesa gye buvuddeko, eky’okubongeza omusala.
Nga 26 omwezi gw’okutaano omwaka guno abakulira ekibiina ekigatta abasomesa mu ggwanga NATU, saako n’abakulembeze ba bakozi baasisinkana omukulembeze we ggwanga ne bamutegeeza nga bwe baali bakandaaliridde ennyo nga tebongezebwa musaala kye baali bagamba nti baali bakooye nga ekiddako baali bagenda kukunga banaabwe beediime.
Pulezidenti yabasaba okukakkana nabasuubiza nti yali ajja kukola ku nsonga zaabwe ku nkomerero y’omwezi gw’omusanvu olwaleero.
Mu lukiiko olutudde mu offiisi ya Ssabaminisita mu Kampala olwaleero olubadde lukubirizibwa Minisita we by’enjigiriza Janet Kataha Museveni, Pulezidenti mu bubaka bwe obumwetikkiddwa omumyuka wa Ssabaminisita asooka Rt.Hon.Moses Ali agambye nti omukulembbeze we ggwanga akkirizza okwongezebwa ku musaala gwa basomesa era nga batadde ku bbali ensimbi obuwumbi 101 nga kwotadde ne ndala obuwumbi 49 okusobola okukola ku nsonga ze misaala gya basomesa.
Kati kitegeeza nti obuwumbi 150 bwe butereddwawo Gavumenti okusobola okukola ku nsonga ze misaala gya basomesa mu mwaka gwe bye nsimbi 2019-2020.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com