NAMUNGI w’abantu yeyiye mu kisaawe kya yunivasite ye Nkumba mu Ssaza lye Busiro okwetaba ku matikkira ga Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II aga 26.
Kabaka Mutebi yatikkirwa nga 31 omwaka gwa 1993 ku kasozi Naggalabi Buddo, era nga okuva olwo buli mwaka obuganda bukuza amatikkira ge mu maSsaza ag’enjawulo.
Omulundi guno amattikira g’aakuziddwa mu Ssaza lye Busiro era nga yatuukayo ku lw’akubiri era nga eno yasooka kulambula abantu be abawangaalira mu Ssaza lino, saako n’okutuukako ku bitebe bye bika eby’enjawulo omwabade ekye Mmamba, ekyeffumbe ne bilala.
Bwabadde awa obubaka bwe obwamatikkira g’omwaka guno Kabaka akubirizza abantu ba Buganda okufaayo ennyo ku baana abato, era nabasaba bafubenga okubatwalako ku mikolo gy’obuwangwa ne nnono basobolae okukula nga bamanyi obuwangwa bwabwe.
Omukolo guno era gwetabiddwako abagenyi ba Kabaka okuva mu bwakabaka bwa Nigeria, omumyuka wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Sekandi era nga yakkikiridde Pulezidenti Museveni, abataka b’obusolya, ababaka ba Palimenti, abaami ba Kabaka nabantu abalala bangi okuva mu Uganda n’ebweru we Ggwanga.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com