ABATUUZE abaali bakola omulimu gw’obuvubi ku myalo egyetolodde Disitulikiti ye Buvuma ge bakaaba ge bakomba oluvanyuma lw’okutulugunyizibwa abaselikale abalwanyisa envuba embi abasindikibwayo gye buvuddeko be bagambye nti bano baabakakkanako ne babakuba emiggo saako n’okubatulugunya nga babasiba mu makomera egenjawulo.
Bano bagamba nti wakati mu kutulugunyizibwa baafuna obuvune obwenjawulo ku mibiri gyabwe, nga abamu ku bo kati baafuuka balema olwe miggo ne nsambaggere abaselikale bye babakubanga, era nga kati bangi tebakyasobola kwetuusaako kyakulya yadde okubaako kye bayamba ab’omumaka gaabwe.
Abudul Nasser Lubega omutuuze ku kyalo mpolwe ekisangibwa mu Town Council ye Buvuma agamba nti mu mwezi gw’okusatu omwaka guno abaselikale baamusanga nga ayanika obutimba ku lubalama lwe nnyanja olweggulo ne bamugwako ekiyifuyiifu ne bamukuba nga bwe bamusaba abawe obutimba obweyambisibwa mu kuvuba obwennyanja obuto, bwagamba nti mu kiseera ekyo yali tamanyi mayitire gaabwo.
Yagambye nti abaselikale baamukuba emiggo amagulu saako n’okumusamba omubiri gwonna ekyamuletera okulemala era nga takyalina kye yekolera mu kiseera kino, kyagamba nti yeetaaga obuyambi kuba takyafuna kyakulya, okusomesa abaana be, obujjanjabi ne bilala.
Okulombojja ennaku eno yonna abatuuze baabadde bakungaanye mu lukiiko olwayitiddwa ekibiina ky’obwanakyewa ekyavuddeyo okulwanirira eddembe ly’obuntu ku nnyanja Nalubaale n’okusingira ddala ebizinga bye Buvuma ki Independent Citizens Advocacy.
Nga wano abatuuze abawerako baalombozze ennaku gye basanze okuva Gavumenti bwe yasalawo okutwala amaggye ku nnyanja, era ne bategeeza nti nga ojjeeko okutulugunyizibwa tewakyali yadde muntu yenna akkirizibwa kuvuba ku kyannyanja yadde kyakulya kye bagamba nti kino kibanyigirizza nnyo nga kati kyetagisa Gavumenti yennyini okuyingiramu okusobola okubataasa.
“Eby’okuvuba twabivaako dda era ennyanja twagilekera baselikale kuba kati yafuuka ya bagagga bokka, kati ffe tulagewa nga wano we twajjanga ensimbi ezitubeezaawo” Abatuuze bwe baagambye.
Akulira ekitongole kya Independent Citizens Advocacy Ben Kiggundu mu kwogerako gye bali yabategezezza nti ogumu ku mulimu omukulu ekitongole gwe kigenda okukola e Buvuma kwe kulaba nga balwanirira abavubi abaatulugunyizibwa abaselikale okufuna obwenkanya saako n’okulaba nga Gavumenti evaayo okubayamba.
Yagambye nti bagenda kukola ekiwandiiko ekyawamu nga kilimu kalonda yenna akwata ku bantu abali mu mbeera embi bakitwalire omukulembeze we ggwanga ne ba Minisita be kikwatako okusobola okulaba nga wabaawo ekikolebwa amangu ddala.
Ye omubaka omukyala atwala Disitulikiti ye Buvuma Jenifer Nantume Egunyu bwe yatuukiriddwa ku nsonga eno yagambye nti yafuna okwemulugunya kwa batuuze be bano, nagamba nti ali mu ntekateeka okusobola okwanja ensonga zaabwe mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu zitesebweko.
Yagambye nti agenda kusala amagezi gonna okulaba nga atuukirira omukulembeze we Ggwanga ku nsonga zino nti kubanga yazimutegeezaako gye buvuddeko nasuubiza okusisinkana ekibinja kyabantu abakosebwa mu bikwekweto ebyakolebwa abaselikale b’okumazzi saako naabo emirimu gy’okuvuba bejagootaanako alabe bwabayambako.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com