KKOOTI ejulirwamu mu Kampala yejjerezza Sarah Nabikolo mukyala w’omugenzi Eria Bugembe Kasiwukira omusango gw’okutta Bba ogwamusingisibwa gye buvuddeko.
Ensala y’abalamuzi eyasomeddwa omuwandiisi wa kkooti, Jesse Byaruhanga yejjeerezza Nabikolo omusango gw’okutta bba era nga kati mu kkooti wasigaddeyo okujulira kumu kwokka okwa Sandra Nakungu muganda wa Nabikolo n’omuselikale wa Poliisi Ashraf Jaden abawakanya okubasingisa omusango n’okubasiba emyaka 20 buli omu.
Abalamuzi basatu okuli Elizabeth Musoke, Hellen Obura ne Ezekiel Muhanguzi bazzeemu okwetegereza fayiro n’obujulizi bwonna nga bwe bwaleetebwa mu
Kkooti Enkulu ng’oludda lwa gavumenti oluwaabi bwe lwasaba ne basalawo nti mu fayiro temuli bujulizi bulumika Nabikolo nti yatta bba era ebirimu byonna bigambibwa bugambibwa.
Eria Bugembe “Kasiwukira” yattibwa nga October 17, 2014.
Mu kuddamu okwetegereza baasimbye nnyo essira ku bujulizi bwa Richard Byamukama eyategeeza kkooti nti Jaden yamutuukirira ng’amuwa ddiiru ya bukadde 50 okutta Kasiwukira. Nti yasisinkana Jaden ne Nakungu enfunda eziwera nga bateesa ku ngeri gy’agenda okuttamu Kasiwukira era ne bamutegeeza nti Nabikolo ensonga zonna yali azimanyiiko nti naye teyafuna mukisa gumusisinkanako.
Byamukama yagamba nti baakomekkereza bakkaanyizza obukadde 20 n’abasaba bamusasuleko atandike okukola omulimu wabula agamba nti yali ayagala kubakwata na bujulizi bwa ssente naye aba akyalinda ssente agenda okuwulira nti Kasiwukira emmotoka emusse.
Baagambye nti bamadaamu bangi nga bw’aba teyasobola kufuna mukisa kulaba na kwogera na Nabikolo kkooti tesobola kukkiriziganya na ludda luwaabi nti Nabikolo ye yali madaamu.
Bazzeemu okwetegereza n’obujulizi bwa muganda w’omugenzi, John Ggayi Ssebunya eyategeeza Kkooti Enkulu nti Kasiwukira yamuyita abatabaganye ne mukyala we Nabikolo ng’ayitirizza okuyomba oluvannyuma lw’okufuna omukyala omulala n’amuzaalamu n’abaana.
Ggayi yategeeza kkooti nti Kasiwukira yeetondera mukyala we era ennaku ezaddako baali boogera bulungi nga balaga nti tebalina buzibu bwonna naye teyasobola kukakasa kkooti oba nga Nabikolo yali asonyiyidde ddala kasiwukira.
Abalamuzi baagambye nti obujulizi bwa Ggayi bwali tebumatiza bulungi yadde nga Nabikolo ne bba baalina obutakkaanya kubanga teyali mu mbeera esobola kutegeera ki kyamulowooleza era ng’okugendera ku kusaba kw’oludda oluwaabi nti kino kye kyaviirako Nabikolo okutta bba kiba kikyamu.
Bagasseeko n’obujulizi bwa Silver Habimaana, Kasiwukira gwe yalagira okulondoola mukyala we ng’ateebereza nti Nakungu amutwala mu basawo b’ekinnansi.
Baagambye nti yadde nga Habimaana agamba nti Nabikolo yamulumba ku siteegi ya bodaboda n’amuvuma ng’akitegedde nti amulondoola kino tekirina we kikwataganira na kutta bba era omulamuzi wa Kkooti Enkulu Masalu Musene yali mutuufu obutabugenderako ne yejjeereza Nabikolo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com