OMUDUMIZI wa Poliisi mu Kampala ne miriraano Moses Kafeero avuddeyo nayita Omusumba akulembera ekkanisa ya House of Prayer Ministries Aloysias Bugingo abeeko byanyonyola ku bigambibwa nti akozesa ebigambo ebitali birungi ku mukyala we, Teddy Naluswa Bugingo.
Okusinziira ku Kafeero agamba nti ekiyisizza Bugingo kwe kuba nti ebigambo byayogera ennaku zino bivuddeko obutali butebenkevu, nti kubanga abantu oluvanyuma lw’okubiwulira ku mikutu egyenjawulo beeyiye ku nguudo ne batandika okwekalakaasa kyagamba nti kilina okukoma.
Agambye nti amaze okukubira Bugingo essimu nga amuyita ajje ku poliisi balabe bwe bayinza okukomya ebigenda mu maaso.
Omusumba Aloysias Bugingo azze ayogera ebigambo ebikankana ku mukyalawe, nga nebisembyeyo bwe yamwogerako nga bwe yamugumikiriza emyaka 10 nga atawanyizibwa ekikulukuto, nga kino kye kyatabudde abakyala ne beekalakaasa ku makya ga mande.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com