KU nkomerero ya wiiki eno omuyimbi Joseph Mayanja amanyiddwanga Jose Chameleon yakyaddeko mu maka ga myimbi munne, ate era omubaka wa Kyadondo East mu Palimenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine agasangibwa ku kyalo Magere mu Wakiso, ne beevumba akafubo bombiriri okumala akaseera ekawezeeko era nga temwakkiriziddwamu bantu balala, yadde nga wabadewo abawerekedde ku Chameleon.
Ensonda zategezezza nti engeri gye kiri nti Mayanja yamala dda okusalawo okwesogga ekibiina kye by’obufuzi ekya Democratic Party (Dp) ate era nga kino kyatta omukago n’ekisinde kya People Power mu ngeri yonna kyabadde kimukakatako okugenda okusisinkana akulira People Power boogeremu.
Bayogedde ku nsonga nnyingi nga muzino ezisinga zaabadde zetololera nnyo ku by’obufuzi mpozzi n’okuyimba, wano Mayanja yasabye Kyagulanyi okumuwabulanga mu by’obufuzi kubanga ebbanga lyabimazeemu ddeneko bwogerageranya ku ye ayakabimalamu emyezi obwezi.
Ensonga ya Mayanja okwesimba ku bwa Lord Mayor nayo yeemu ku bye bayogeddeko era nga ye Chameleon ayagala Bobi Wine amuwandeko eddusu engeri gye bali mu kisinde ekimu asobole okulya entebe y’omukulu we Kibuga.
Ensonga y’okwesimba ku bwa Pulezidenti Kyagulanyi yategezezza Chameleon nti agiriko nnyo era namutegeeza nti okwetoloola amawanga kwaliko kati anoonya buwagizi okuva mu Nsi ez’ebweru asobole okuvuganya Pulezidenti Museveni.
Bakkanyizza Mayanja okukyusa mu neyisa naddala nga agenda okuva mu buyimbi okufuuka omukulembeze wa bantu, kye baagambye nti Kyagulanyi wakumuyambako nnyo okumulaga emitendera naye mwe yayita okutuuka okufuuka omubaka wa Palimenti.
Bano bombiriri gye bwavaako nga bakyali bayimbi baali nnyo ku mbiranye, era nga balwana lwana naye olumu Chameleon yavaayo nategeeza Bobi Wine ne munaabwe Bebe Cool nti “kati banange tukuze, n’abaana baffe bakuze tuve mu mpalana ezitatuyamba n’okulwana tukole ebitutwala mu maaso”.
Bobi Wine bwe yabuuzibwa yategeeza nti kituufu naye yali akuze mu myaka nga okulwana tekukyetagisa, wabula nategeeza amazima agaali ku mutima gwe nti gwagaana okukwatagana ne munne Bebe Cool, naye nakkiriza nti Chameleon teyamulinaako buzibu, era nga omuntu yali amwagala.
Kyagulanyi agenda kuvuganya ku bwa Pulezidenti ate Mayanja ayagala kifo kya bwa Lord Meeya mu Kibuga Kampala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com