EGGYE lye Ggwanga litandise omulimu gw’okuwandiika abaselikale ba Local Defence Unity (LDU) okwetolola e Ggwanga abawerera ddala 1,300 nga omu ku kawefube w’okulwanyisa obumenyi bwa mateeka mu biseera by’okulonda.
Ebitundu okuwandiika kuno gye kugenda okuyindira kuliko, amasekkati ge ggwanga, amambuka, obukiika ddyo ne kkono, era nga kuyindira ku bitebe bya zi Disitulikiti saako ne ku miruka egyalondeddwa.
Sabiiti ewedde omwogezi we Ggye ly’okuttaka Lt. Col. Henry Obbo yategeeza nti okuwandiika kwomulundi guno kugendereddwamu okwongera okunyweza eby’okwerinda mu ggwanga nga kwotadde ne mu biseera by’okulonda awatera okubeera obuvuyo obungi, saako n’okulaba nga bannaUganda ne bintu byabwe bikuumibwa butiribiri.
Bano abawandikibwa bagenda kutendekebwa mu bukodyo obw’ekijaasi oluvanyuma basindikibwe mu bitundu ebyenjawulo okukola emirimu.
Ebimu ku bisanyizo ebyetaagibwa abagenda okutendekebwa mulimu endaga muntu entuufu ku buli muntu, olina okuba nga oli mulamu bulungi era nga n’abasawo bakakasizza, obuyigirize bwe kibiina eky’omusanvu ne siniya ey’okuna, nga toli muzzi wa misango ate nga n’ejobeera ku kitundu bakumanyi bulungi.
Bano olunamala okutendekebwa bagenda kwegatta ku abo 6000 abasooka okutendekebwa mu ttendekero lye kijaasi elimanyiddwa nga Oliver Thambo elisangibwa e Kawewetta mu disitulikiti ye Nakaseke.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com