ABABAKA ba Palimenti naddala ab’ekibiina kya NRM balaze obutali bumativu olw’okubateeka ku bukiiko bwe batasaba, kye bagamba nti kibakosa mu ntambuza ye mirimu gyabwe.
Bino byabaddewo mu lutuula ku lw’okusatu era nga omubaka omukyala owa Disitulikiti ye Kyankwazi Anna Maria Nankabirwa ye yaleese ekiteeso ekyawulikise nga okwemulugunya eri Palimenti nga agamba nti Nampala w’oludda lwa Gavumenti Ruth Nankabirwa yamujja ku kakiiko ke bibira (Natural Resources Committee) ke yali asabye era nga gye yalina obumanyirivu obusingako, namuteeka mu kakiiko ka Sayansi ne Tekinologiya bye yagambye nti tabilinako yadde obumanyi bwonna.
Yagambye nti kino Ruth Nankabirwa yakikola lwa butamwagaliza era nti yakikola aleme kuddamu kuwulikika kubanga yali akimanyidde ddala nti eya Sayansi tabilinaako bumanyi bwonna, nayongerako nti oba oli awo ayagala kumusuula mu kitundu kye okulonda okujja, nti kubanga bwe yamubuuza lwaki yamujje ku kakiiko ke yasaba yamuddamu nti ndi wa ddembe okukukasuka wonna we njagala, kyagamba nti si kyabwenkanya.
Wabula Ruth Nankabirwa mu kwelwanako yegaanyi byonna munne bye yayogedde nategeeza Sipiika nti mu NRM balina emitendera egigobererwa nga bateeka ababaka ku bukiiko obwenjawulo, era nti asooka kwebuuza ku Sipiika yennyini ne Ssabaminisita, olwo nalyoka olukalala alusindika mu lukiiko olw’okuntikko olw’ekibiina gye balukakasiza.
Yagasseeko nti mubaka munne ow’eKyankwanzi yali yasaba akakiiko kamu kokka ekyaleetawo obuzibu nga abantu bangi baali bakasabye, kye yagambye nti tekyali kigenderere nga ye bwagamba.
Ababaka balala bangi bazze beemulugunya ku ngeri agabwamu obukiiko nga ne gyebuvuddeko Omubaka wa Lubaga North Moses Kasibante yaggibwa ku kakiiko akalondoola entambuza ye mirimu mu bitongole bya Gavumenti COSASE, natekebwa ku kakiiko akakakasa ababa balondeddwa (Appointments Committee).
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com