ANDREW Mukasa amanyiddwa ennyo nga Bajjo Events olunaku lwa leero agenda kusula mu nnyumba ye n’abomumakaage oluvanyuma lw’okuyimbulwa okuva mu mbuzi ekogga gyamaze akaseera ka wiiki 3.
Ono atereddwa ku kakalu ka kkooti era nga alagiddwa okweyanjula mu kkooti nga 25 omwezi guno omusango gwe gutandike okuwulirwa.
Omulamuzi wa kkooti y’okuluguudo Buganda Stella Amabillis asoose kulagira Bajjo okusasula ensimbi obukadde 4,000,000 nabamweyimiridde nabo nabalagira okusasula obukadde 20 buli omu obutali bwa buliwo.
Bwabadde asaba okweyimirirwa Puliida wa Bajjo Erias Lukwago asabye omulamuzi Amabillis okuyamba Bajjo kuba ye taata awaka alabirira ab’omumakaage saako n’okubanonyeza ekyokulya nga bwabeera mu kkomera baba bakosebwa.
Anyonyodde nti Bajjo alina ekilwadde kyomugongo ekimusumbuwa ne bilwadde ebilala nga abadde alina eddembe lye ery’okweyimirirwa.
Ono avunanibwa omisango omuli okukuma mu bantu omuliro bwe yali mu bitundu bye Kampala, Mbarara, Ibanda ne bilala nga kigambibwa nti bino abaamateeka baakizuula nti byali bitataaganya eddembe ly’omukulembeze we Ggwanga.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com