OLUVANYUMA lw’obumenyi bwa mateeka okweyogera mu bitundu bye kibuga ne nkingizzi zaakyo okweyongera, bannamaggye abakwasibwa omulimu gw’okuduumira abaselikale ba musirike LDU basabye abakulembeze b’ebitundu okutekawo enkolagana eya namaddala nabaselikale bano okusobola okumalawo obumenyi bwa mateeka.
Kino kiddiridde obutemu,n’obubbi okweyongera mu bitundu okuli Mukono, Kampala ne Wakiso kyokka nga eno aba LDU gye baatekebwa okufafaagana nabo, naye nga kye bazudde abakulembeze n’abatuuze babadde bakyalemeddwa okukwatagana n’abakuuma ddembe.
Omwogezi we kibinja kya maggye ekisooka mu Ggye lye Ggwanga Bilal Yusuf Katamba agamba nti abaselikale ba LDU babadde bagezezaako okulwanyisa ebikolwa ebikyamu yadde nga bakyali batono, kyagambye nti singa abakulembeze be bitundu naabo bavaayo ne babawa amawulire mu bwangu omulimu gujja kubanguyira.
Katamba agamba nti baatekawo ebibinja ebyenjawulo mu bitundu okuli Mukono, Kira, Kampala ne Wakiso ne kigendererwa oky’okukyusa eby’okwerinda bye bitundu bino, saako n’okugwa mu zimu ku nkwe z’okubba n’okutemula enekusifu ezikolebwa abamenyi ba mateeka, nti kyokka ezimu zigwa butaka olw’okubulwa amawulire amatuufu okuva ku bantu ba bulijjo.
Yasabye abakulira eby’okwerinda mu bitundu okukolagana obuterevu n’abaLDU, saako n’okubabuulira ebisoomoza ebili mu bitundu byabwe, nga wano bwe bajja okusobola okubyanganga mu bwangu nga tewali akoseddwa.
Yanyonyodde nti bagenda kuwandiikayo aba LDU abala 1,300 okutandika ne wiiki ejja nga wano abalina obwetaavu bwonna mu kwegatta ku Ggye lino baddembe okugenda mu bifo we bawandikira ne bbaluwa z’obuyigirize obw’ekibiina eky’omusanvu ne Siniya ey’okuna.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com