EYALI Omubaka wa Kyadondo East mu Palimenti Apollo Kantinti ebigambo by’ongedde okumwononekera bwasindikiddwa mu kkomera ekkulu e Luzira agira ebeerayo okumala ebbanga lya myezi 6 oluvanyuma lw’okulemererwa okusasula gwe yavuganya naye Sitenda Sebalu obukadde bwe nsimbi 108 zamubanja.
Kinajjukirwa nti mu kulonda kwa 2016 Kantinti yavuganya ne Sebalu ku kaadi ya FDC, era namuwangula, kyokka Sebalu nasalawo okugenda mu kkooti nga awakanya obuwanguzi bwa Kantinti era kkooti eyasooka nesalawo nti Sebalu yalina omuzinzi mu kuwaaba kwe era negenda mu maaso nesazaamu obuwanguzi bwe, era nelagira okulonda kuddemu mu kitundu ekyo.
Kino Kantinti nga ye yali omubaka mu kiseera ekyo yakiwakanya era nagenda mu maaso najulira mu kkooti ejulirwamu, nga eno nayo omusango gwamumegga era kkooti nelagira okulonda okutegekebwa amangu ddala saako n’okusasula Sebalu ensimbi zonna ze yali ayononedde mu musango guno.
Nga 11 omwezi gw’omukaaga kkooti yayisa ekilagiro okukwata Kantinti nti kuba okuva omusango bwe gwamusinga yali tasasulangako ku nsimbi ez’amusalirwa era wiiki ewedde Kantinti yakwatibwa nasindikibwa e Luzira.
Olwaleero bwaleteddwa mu maaso g’omulamuzi amutegezezza nga bwe yalemwa okusasula ensimbi obukadde 108 Sebalu bwamubanja, namulagira agira abeera e Luzira okumala emyezi 6 okutuusa nga asasudde ensimbi ezo.
Guno mulundi gwakubiri nga Kantinti asindikibwa e Luzira emyezi 6 ogwasooka gwali gwa bbanka ya Standard Charter eyamuwola obukadde 300 mu mwaka gwa 2016 nga kuliko amagoba ga bitundu 25 ku buli 100 kyokka nalemwa okusasula.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com