ABANTU abakosebwa okubumbulukuka kwe ttaka mu Disitulikiti ye Bududa bafunye akaseko ku matama oluvanyuma lwa Gavumenti okubasengula saako n’okubazimbira ennyumba ez’omulembe mwe bagenda okubeera obulamu bwabwe bwonna.
Ekitundu we babasengulidde kiyitibwa Bunambutye Resettlement, nga kino kisangibwa mu Disitulikti ye Bulambuli nga kati ekitundu ekisooka ekyabantu Gavumenti be yatekateeka okusengula baatuuka dda.
Bwabadde akola omukolo ogw’okuggulawo enju zino Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni agambye nti ennyumba zino zaazimbiddwa bantu abo bokka abakosebwa okubumbulukuka kwe ttaka, era nga Gavumenti elina entekateeka z’okuzimbayo endala abantu bonna abalina obwetaavu bafune bawone okuttibwa amayinja agatwala ab’enganda zaabwe.
Museveni yebazizza Offisi ya Ssabaminisita, ekitongole kya Poliisi, eggye lya UPDF ekitongole ekikola ku kuzimba saako n’ekitongole kya makomera bagambye nti abaselikale bakoze omulimu mu nkola ya mwoyo gwa ggwanga ekireseewo okukekkereza mu nfulumya ye nsimbi eri Gavumenti.
Museveni yalagidde offiisi ya Ssabaminisita okwongera okussaawo omutemwa gwe nsimbi okusobola okwongera ku muwendo gwa mayumba agazimbiddwa wakati mu kutaasa abantu abali mu mbeera embi nga buli kaseera beelarikirira amayinja okubagwira.
Yasabye abasenguddwa okufaayo okukozesa ettaka elyabawereddwa okulimako emmere ey’okulya saako nejebayinza okufunamu ensimbi nga bwalafubana okubategeeza enyingiza y’omumaka etandikire ku bbo.
Pulezidenti amaze mu kitundu kye Bugisu ennaku 3 nga eno asisinkanye abantu ab’enjawulo, saako n’okutongoza enguudo ezigenda okuzimbibwa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com