OLWALEERO omusuubuzi we mmotoka mu Kampala Muhammad Sebuufu lwakitegedde nti agenda kumala emyaka 60 ku egyo gyasigazza mu bulamu bwe Nsi eno mu kkomera e Luzira oluvanyuma lw’omusango gw’okutta musuubuzi munne Donah Katushabe okumukka mu vvi.
Omulamuzi wa kkooti enkulu Flavia Ssenoga emisango Sebuwufu ne banne yagibasingisa wiiki ewedde, era olwaleero babadde baleteddwa okumanya ekibonerezo ekibawereddwa.
Bano 8 kigambibwa nti mu mwaka gwa 2015 bawamba era ne batulugunya Katushabe okutuuka bwe baamutta nga bamulanga okuba nti yali yatwala emmotoka yaabwe okuva ku kifo ekimanyiddwanga Pine ne basigala nga bamubanja obukadde mwenda bwe baagamba nti bwamulema okusasula.
Bwabadde awa ensalawo ye mu musango guno saako ne bibonerezo ku bonna abavunanibwa Omulamuzi Ssenoga agambye nti, Sebuwufu ne banne 6 emisango okuli ogw’okuwamba ne kigendererwa eky’okutta gubasinze nga kwotadde ogw’obubbi bwa ssente ne ssimu, ate munaabwe omulala ye nasingisibwa ogw’okuyambako mu butemu obwaliwo.
Agambye nti bano abasingisiddwa emisango ekintu kye baakola kyali kyamutawana ate nga baali bakimanyidde ddala nti baali bazza musango, omwali n’okutwaliramu obulamu bw’omuntu ekitasonyiyikika, nti kubanga baagenda mu maaso ne batulugunya Katushabe ne bamubba ate ne batakomawo n’okumutta ne bamutta, songa baali basobola okumala ensonga ezo mu buntu.
Alaze engeri abaami bano gye baagendamu awaka wa Katushabe ne bamuwamba era ne bamusiibya mu kifo we batundira emmotoka zaabwe olunaku lulamba nga bwe bamutulugunya ekyamuviirako okufa, nagamba nti kino kyeraga lwatu nti okufa kwe tekwali kwa butanwa wabula kwali kugenderere, era nga bonna ababadde bavunanibwa baakulinamu omukono gwa maanyi.
Ayongeddeko nti wakati mu kubawa ekibonerezo kino, Kkooti eyagadde okusindika obubaka eri abantu abalina obutakkaanya mu mirimu ne nsimbi okubukwatanga nu ngeri ey’obwaSseruganda sso ssi kutwalira mateeka mu ngalo.
Olumaze ebyo nategeeza nti Sebuufu, Godfrey Kayiza, Phillip Mirambe, Paul Tasingika, Yoweri Kitayimbwa, Damaseni Ssentongo ne Shaban Odutu abasindise mu kkomera e Luzira bamaleyo emyaka 40 olw’obutemu bwe baakola, ate bwe bagimaliriza era basibwe emyaka emilala 20, olw’obubbi n’okuwamba omuntu.
Ye munaabwe Steven Lwanga asibiddwa emyaka 7 olw’okuyambako ku bano mu butemu obwaliwo.
Bano era balagiddwa okusasula obukadde bwa sente za Uganda 100 eri aba famile ya Katushabe olw’okufiirwa omuntu waabwe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com