OMUMYUKA wa Ssentebe we kibiina kya NRM mu Ggwanga Al-Haji Moses Kigongo alabudde abali ku ludda oluvuganya Gavumenti ya NRM obutamala biseera nga beetegeka okuvuganya, nagamba nti ekibiina kya NRM kikyaliwo nnyo kuba eby’okukolera eggwanga bakyalina bingi.
Kigongo agamba nti bbo nga abali mu bukulembeze bwa Uganda mu kiseera kino tebayinza kukwasa buyinza bantu be yayogeddeko nga abatanetegeka nga buli kaseera bavuma buvumi Gavumenti ya NRM kyebeera ekoze.
Okwogera bino yabadde ayitiddwa okw’ogerako ne bannakibiina abalondebwa okuyambako Ssentebe wa NRM okusomesa bannaUganda okwekulakulanya nga batandikira mu maka gaabwe, okwenyigira mu ntekateeka za Gavumenti omuli ne bonna bagaggawale saako n’okulambika ebyo ebikoleddwa Gavumenti okuva lwe yakwasibwa obuyinza emyaka 3 egiyise okwabadde e Kyambogo ku offiisi za Ssentebe we Kibiina kya NRM Yoweri Kaguta Museveni.
Kigongo yakinoganyizza nti bakyaliwo nnyo mu buyinza kubanga bannaUganda bakyabalinamu obwesige bwamaanyi nagamba nti balina okutuukiriza ebigendererwa bye kibiina kya NRM ebitambulira ku nnyingo 4 okuli Mwoyo gwa Ggwanga, Mwoyo gwa Africa eyawamu, Eddembe mu kwesalirawo saako n’okukyusa eby’enfuna bye ggwanga, era nga kati amaanyi bagatadde nnyo kukukyusa ebyenfuna mu maka abantu babeere bulungi.
“Ffe abantu abakuze mu myaka ate nga ffe tuli mu bukulembeze tulabye ebintu bingi nga mukyo tetusobola kuleka bavubuka batalina mulamwa kuddamu kutabangula ggwanga lino lye twaleetamu emirembe” Kigongo bwe yagambye.
Lt. Edith Nakalema akulira akakiiko akatekebwawo Pulezidenti okulwanyisa obulyi bwe nguzi yagambye nti mu kiseera kino beefunyiridde nnyo mu kulwanyisa abasaba enguzi saako n’abo abagiwaayo, kye yagambye nti ssi kyangu naye nga kati balina we batuuse.
Yasabye abaabadde mu lukiiko luno okuloopanga abantu abasaba enguzi naddala abali mu bitongole bye by’okwerinda, abakola mu offiisi za Gavumenti naddala ezigaba emirimu nagamba nti talina gwajja kuttira ku liiso wabula anakwatibwa ajja kuvunanibwa mu mateeka ge ggwanga.
Ye akulira ekitongole kya Operation Wealth Creation Lt. Gen Charles Angina yategezezza abetabye mu lukiiko nti amaggye nga ojjeeko eky’okukuuma abantu n’ebyabwe ate era beetegefu okukolaganira awamu nabo mu byenkulakulana naddala ennyigiza mu maka nga mukama wabwe Pulezidenti bwe yabalagira.
Yagambye nti byonna eby’etagisa naddala mu bulimi babilina, era nga buli kadde babisindika ku ma Disitulikiti okwetoloola eggwanga nasaba bannaUganda okukomya okulera engala wabula baveeyo bakole endokwa bazisimbe, ebisolo babilunde bafunemu ensimbi basobole okwejja mu bwavu.
Akulira eby’emirimu mu offiisi ya Ssentebe wa NRM e Kyambogo muky. Milly Doka Babalanda yasabye abalondebwa ku buli mutendera okuvaayo okwogerera ekibiina kya NRM ebilungi bye kikoledde abantu awatali kwetiririra kubanga baakizudde nti be batuufu era omukulembeze we ggwanga abalinamu obwesige bwamaanyi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com