OMUTEGESI we bivvulu Andrew Mukasa amanyiddwanga Bajjo Events olwaleero aganiddwa okweyimirirwa kwabadde asabye nga ayita mu looya we Elias Lukwago.
Akulira abalamuzi ku kooti ya Buganda Road Stella Ambisili yamugaanye nga agamba nti ono emisango gye yazza gyamaanyi egyetaaga okwongera okwetegereza obulungi.
Bajjo avunanibwa emisango omuli okukuma mu bantu omuliro nga ayita ku mikutu emigatta bantu, saako n’okutyoboola ekitiibwa kya Pulezidenti mu katambi ye kennyini ke yekwata gye buvuddeko.
Bwabadde awayo okusaba kw’okweyimirirwa ku kakalu ka kkooti, Bajjo aleese abantu 3 bamweyimirire okubadde Abbey Musinguzi amanyiddwanga ABITEX bwe bakola ogw’okutegeka ebivvulu, Aloysias Matovu Kiiza saako ne munna Dp Moses Bigirwa.
Oludda oluwaabi olubadde lukulembeddwamu omuwaabi wa Gavumenti Patricia Chingitho, ono asoose okutegeeza omulamuzi nti omuselikale anonyereza ku musango guno Iman Were yamaze okukuba ebilayiro nga alinze kulumiriza Bajjo mu kkooti.
Anyonyodde omulamuzi nti bamaze okukitegeera nti singa Bajjo aweebwa omukisa okweyimirirwa ajja kutataaganya obujulizi nga afulumye wabweru saako n’okwongera okukuma mu bantu omuliro, bwatyo omulamuzi namulagira adde e Luzira okutuusa nga 5 ogw’omusanvu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com