NGA wakayita ennaku 14 Gavumenti ya Rwanda nga egguddewo ensalo e Katuna, ate ezeemu n’eziggala.
Kinajjukirwa nti nga 10 omwezi gwomukaaga omwaka guno ekitongole kya Rwanda ekivunanyizibwa ku kusolooza omusolo ki Rwanda Revenue Authority kyalangirira nga booda bwegguddwa okusobozesa ebimotoka ebinene okusala ensalao bitwale ebyamaguzi munda mu ggwanga lyabwe, nga kino kyali kya kukolebwa okumala ssabiiti 2 zokka.
Era ennaku zino olwaweddeyo ku ssande ab’obuyinza mu Ggwanga lya Rwanda basazeewo okuddamu okuggala ensalo nga bwe baali bakitegese, era nga kilowozebwa nti kandiba akagenderere okuddamu okugiggalira ddala nga bwe baakola mu mwezi gw’okubiri.
Wabula bino byonna bibaddewo naye nga Gavumenti zombiriri tezivangayo kwogera ku wa webatusizza nteseganya zaabwe okusobola okumalawo obutakkaanya obuliwo.
Yadde nga enslo zino zibadde zaggulwa naye abamu ku basubuzi be twogeddeko nabo batutegezezza nti era babadde basanga obuzibu okusala okudda e Rwanda ne mu Uganda.
Olwaleero akatale akatera okubaayo aka buli saabiiti akamanyiddwanga World Market keetabyemu abantu batono nnyo, olw’okuba abantu abasing okugulamu ebintu baba bava Rwanda ate nga ensalo zikyali nsibe
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com