ABAKULEMBEZE b’olukiiko olw’alondebwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okumuyambako okukola emirimu mu bantu be mu Mukono eyawamu lutandise okukakkalabya.
Gye buvuddeko nga ayita mu buyinza obumuweebwa mu Ssemateeka we kibiina ekiri mu buyinza ekya NRM Pulezidenti Museveni era nga ye Ssentebe waakyo, yasalawo okufunayo ekibinja ekigenda okwongera okumukwasizaako emirimu mu bantu be abawansi saako n’okubakunga okwenyigira mu ntekateeka za Gavumenti omuli ne ya Operation Wealth Creation.
Aba Mukono eyawamu nga muno mulimu Disitulikiti 4 okuli Mukono, Kayunga, Buikwe ne Buvuma bbo basazeewo okutandika okukola emirimu, era nga bagenda kutandikira ku kusomesa abantu engeri gye bagenda okwekulakulanyamu nga bayita mu by’obulimi, obulunzi, obusuubuzi, obuvubi ne mirimu emilala nga bayambibwako Gavumenti.
Patrick Mubiru nga ono ye yalondebwa Pulezidenti okukulembera olukiiko olugatta Disitulikiti 4 ezimanyiddwanga Greater Mukono, bwe yabadde asisinkanye abakulembeze abalondebwa gye buvuddeko ababadde mu lukiiko olwatudde ku Ttendekero lya Baroma School of Beauty elisangibwa ku kibuga kye mukono ku lw’okutaano, yakinoganyizza nti, bagenda kutandikirawo okukola omulimu gw’okusomesa abantu ku bikwata ku kibiina kya NRM, Gavumenti byekoledde abantu, saako n’okulondoola ebyo ebikyagaanye okutuukirira okusobola okuyamba Ssentebe we kibiina okubigonjoola.
Yagambye nti bagenda kutandika okusisinkana ebibiina ne bitongole eby’enjawulo naddala ebyo ebilina kye bitandise okukola ekiyinza okwongera ku nfuna yabwe, babanyonyole wa we balemereddwamu olwo balyoke balabe engeri Gavumenti gyeyongera okubakwasizaako.
Yanyonyodde nti essira bagenda kulissa nnyo ku bavubuka abalina kye bakola okugeza nga bamakanika be emmotoka, Abakanika zi Pikipiki, abawala abakola enviiri ne by’okwewunda saako naabo ab’enyigidde mu by’obulimi n’obulunzi, okusobola okukendeeza ku bbula lye mirimu mu bavubuka.
Ye Minisita Ronald Kibuule era nga ye Mubaka wa mambuka ga Mukono mu kwogerakwe yasabye abalondeddwa okukola omulimu ogw’abakwasiddwa n’obwegendereza era nga tebalina gwe batiririra kubanga omukulembeze we Ggwanga ye yabalonze nabawuliza ku buyinza bwe bamuyambeko okutuukiriza emirimu gy’alina okukolera abantu baakulembera.
Yabasabye okwewala enjawukana mu by’obufuzi ze yayogeddeko nga eziyinza okubalemesa okutuukiriza ebigendererwa bye yabatumye era nabasaba okutambulira ku nnyingo 4 ekibiina kya NRM kwe kitambulira, okuli Mwoyo gwa Ggwanga, Mwoyo gwa Africa eyawamu, Eddembe mu kwesalirawo saako n’okukyusa eby’enfuna bye ggwanga.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com