OMULABIRIZI we Namirembe Kitaffe mu Katonda Wilbeforce Kityo Luwalira atenderezza Ssabalabirizi wa Uganda nga mu kiseera kino agenda kuwummula Rt. Rev. Stanly Ntagali olw’obuvumu bwaze alaga naddala nga asimbila amakuuli empisa embi n’emize egitali gy’abugunjufu abazungu gye bazze baagala okukakatika ku bakulisitaayo mu ggwanga lya Uganda.
Okwogera bino Luwalira asinzidde mu Kkanisa y’omutukuvu Paul e Namirembe mu kusaba kw’okwebaza katonda olw’ekiseera Ssabalabirizi Ntagali kyamaze nga yakulembera ekkanisa ya Uganda ku ssabiiti.
Wano wasinzidde nagamba nti Ssabalabirizi ayolesezza obuvumu obwekitalo mu kiseera kyamaze mu ntebe, nawa eky’okulabirako bwe yagaana okukkiriza okusalawo okwali kukoleddwa ekkanisa mu America ne Bungereza okugatta abantu aba’ekiukla ekimu kyagambye nti yakulemberamu banne abalala ne bagaana era ne kiweesa ekkanisa ya uganda ekitiibwa.
“Kitaffe tujja kukujjukiranga olw’ekikolwa ekyo saako ne mbeera zonna endala mwobadde otambuliza ekkanisa nga kwotadde n’okubulira enjiri ya Christo” Luwalira bwe yagambye.
ye Ssabalabirizi Ntagali mu kwogerakwe yasiimye nnyo abakulisitaayo olw’enkolagana gyabadde nabo nagamba nti beeyongere mu maaso n’okubuulira enjiri egatta abantu.
Yanyonyodde nti awulira amawulire nga gawandiika ku balabirizi abalowozebwa okumuddira mu bigere, nagamba nti byonna babilekere Katonda yajja okulonda omuntu omutuufu akulembere ekkanisa.
Abalowozebwa okuddira Ntagali mu bigere kuliko omulabirizi we Mityana Bp. Steven Kazimba, Bp. Kityo Luwalira owe Nairembe nabalala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com