Essomero lya pulayimale ‘e Nakibanga mu muluka gw’e Ssaayi mu ggombolola y’e Nakisunga e Mukono lifunye kabuyonjo za mizigo kkumi okuli n’ezikozesebwa abalema, nga zaazimbibwa ku nsimbi obukadde 46m.
Kabuyonjo zino zaazimbibwa ekibiina ekigabi ky’obuyambi mu ggwanga lya Germany ekimanyiddwa nga Visions for Children, nga kyaapererezebwa ekya kuno ki Katosi Inter Community development Alliance (KIDA).
Omukolo gw’okuwaayo zi kabuyonjo zino gweetabiddwaako omubaka w’ekitundu mu palimenti Johnson Muyanja, eyawadde abatuuze okukomya omuze gw’okusimbira ekkuuli emirimu egireeteba abantu bwe batakwataganya ndowooza za bya bufuzi.
Yabajjukiza nti gavumenti erina entegeka nyingi ennungi naddala eri abavubuka, n’agattako nti bwe zisimbirwa amakuuli, abavubuka be bafiirizibwa omukisa gw’okwetaba mu ntegeka z’okuva mu bwaavu.
Ate ssentebe w’ekibiina ky’e Germany ki Visions for Children Muky. Hila LImar yagambye nti eby’enjigiriza kkubo kkulu omuyitwa enkulakulana z’eggwanga lyonna, n’agattako nti bo basanyufu okufuna omukisa gw’okwetaba mu ntegeka y’okukulakulanya abaana b’ekitundu kino.
Ye akulira ekibiina ki KIDA Tony Kabuye, yasabye abakulembeze ku mitendera egya wansi okufaayo okulondoola emirimu egikolebwa mu bitundu byaabwe, ng’ekkubo ery’okuzza amaanyi mu ba musigansimbi abaleeta kuno emirimu.
Yagasseeko nti bwe bakolaganira awamu ne ba musingansimbi, abakulembeze kibawa omukisa okulaba nti emirimu egireetebwa m u bitundu byaabwe gy’egyo gyenyini abantu baabwe gye
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com