ABASUUBUZI mu katale akanene mu Kibuga kye Mukono bakaaba olw’embeera eri mu Katale kaabwe naddala mu kiseera kino eky’enkuba efuddemba buli lunaku.
Bwotuuka mu katale kano tolema kwewunya mbeera abasuubuzi bano gye bakoleramu, olwe bisooto, emyala egyanjaalira mu bantu nga kwotadde ne Kabuyonjo okuba enkyafu ekiyitiridde.
Abasuubuzi naddala abatunda ebyenyanja, amatooke, ennyaanya ne bilala bali mu mbeera mbi nga bano eby’okubeera abayonjo babivaako dda, kuba ne bwe bajja nga batukula baddayo nga balinga abava okulima, era nga bagamba nti nabaguzi ennaku zino baafuuka batono olwebisooto ebili mu katale kano, nga kino kizizza eby’enfuna byabwe emabega.
Omu ku basuubuzi mu katale kano Ramathan Jjuuko agamba nti embera eno bagibaddemu akaseera akawerako, era nga bafubye okutegeeza abakulembeze ba Munisipaari ne Division ye Mukono embeera mwe bakolera nti kyokka bafuna bisuubizo buli kadde.
Agambye nti bwe kiba kiseera kya musana enfuufu ebajjula bonna, ate okwenkuba gujabagira kubanga abamu balemwa n’okujja okukola nga batya obukyafu.
Ayongeddeko nti abakulembeze bwe batavaayo mangu boolekedde okukwatibwa endwadde ezisibuka ku bujama, naddala ssinga tebakola ku myala ne kabuyonjo ebili obubi ennyo.
Meeya wa Mukono George Fred Kagimu bwatuukiriddwa ku nsonga eno agambye nti ekiri mu katale bakimanyi bulungi, era nagamba nti waliwo entekateeka y’okuteeka obujjo obuziyiza enfuufu ne bisooto mu katale kano, nti era baamala dda okwogerako nabakulembeze b’akatale kano nga banatera okukwatagana batandike okukikolako.
Anyonyodde nti yadde nga Gavumenti eyawakati akatale kano yakatwala era nga bamaze n’okufuna obukakafu nti kagenda kuzimbibwa okutuusibwa ku mutindo, naye bagenda kulaba nga babaako kye bakola okulaba nga bayamba abasuubuzi baabwe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com