Mu ggombolola y’e Nakisunga, abaana abakozesa oluguudo oluva e Kayanja okudda e Seeta-Nazigo nga bagenda ku masomero kati batambula olugendo luwanvu. Sylvia Buyinza ow’e Seeta- Nazigo yagambye nti embeera eno esinze kukosa abayizi abasomera ku Kungu-Bahai ng’omugga gwa Ssezibwa gwawaguza amazzi ne ganjaala mu kkubo ng’abayizi babadde tebasobola kugayitamu.
Fatuma Namukose, omu ku bayizi yagambye nti buli nkuba lw’etonnya amazzi ne ganjaala mu luguudo bazadde baabwe nga babagaana okusoma. Namukose yagambye nti wadde ng’amazzi gakendedde, naye okusala omugga balina kusooka kuggyamu ngatto nga n’abamu basomera mu bigere ne nniigiina oba lugabire eziteetaagisa kusooka kuggyamu.
Sentomeri Isaac, omusuubuzi yagambye nti olw’embeera embi mu kiseera kino, bawalirizibwa n’okusula ku mirimu mu kibuga ng’enkuba etonnye olw’okutya amazzi agabeera amangi nga gazibye oluguudo.
Yagambye nti n’ebirime bivundira mu nnimiro kubanga abavuzi ba bodaboda abandibadde babitwala mu katale bagaana nga batya okugwa mu mugga. Yagambye nti mu kiseera kino, bodaboda okuva e Nakisunga okugenda e Seeta-Nazigo ebaggyako 8,000/- nga zibadde 2,000.
Ssentebe wa Disitulikiti ye Mukono Andrew Ssenyonga agamba nti obuzibu bwonna buva ku nkuba etonnya ennaku zino, nga kino kibaberedde kizibu okulima enguudo zino kubanga bwe balima mu biseera bye nkuba ate enguudo zongera kufa.
Yagambye nti bagenda kukola ekisoboka kyonna okulaba nga batindira emigga gino okusobozesa abayizi ababdde batasobola kutuuka ku massomero okugiyitako.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com