GAVANA wa bbanka enkulu Pulofeesa Emmanuel Tumusiime Mutebile avuddeyo natangaaza ku biliwo mu mawulire, era nalaga nti ye kennyini yeyasaba akakiiko akatekebwawo Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okunonyereza ku bulyi bwe nguzi, akakulirwa Lt Col. Edith Nakalema okunonyereza ku bakungu mu ngeri gye bakolamu emirimu gyabwe.
Mu bbalauwa Mutebile gyawandie nga 14.06.2019 elaze nti oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti ezimu ku nsimbi eziba ziletebwa okuva wabweru we ggwanga zibulankanyizibwa abakungu, bwatyo nasalawo okuwandikira Lt. Col. Nakalema ne banne okunonyereza ku nsonga eno.
Ategezezza nti bbanka enkulu neetegefu okukolagana n’abanonyereza ku nsonga eno kubanga okutuusa nga baterezezza enkola yonna era nagumya abantu obutatya nti kubanga bakolagana bulungi n’abakwasisa amateeka okulaba nga banogera eddala ensonga eno.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com