KKOOTI ewozesa emisango gya ba kalintalo mu Ggwanga kyaddaaki ekkirizza Omusinga wa Rwenziruru Charles Weasley Mumbere okugenda okuziika Nnyina Christine Biira eyafa gye buvuddeko.
Kino kidiride omusinga okutwala okusaba kwe mu kooti nga ayagala emukkirize afulumeko Kampala ne Wakiso gye yali yalagirwa obutasala kusukka, asobole okugenda mu Disitulikiti ye Kasese okwetaba mu kuziika Nnyina eyafa gye buvuddeko.
Ono akkiriziddwa era nalagira amaleyo ennaku 14 zokka nga akungubagira nnyina, kyokka naaganibwa okwetaba mu kukuba olukungaana lwonna omuyinza okuva ebigambo ebikuma omuliro mu bantu.
Oluvanyuma lw’okufuna olukusa Mumbere alabise nga musanyufu agambye nti, asanyukidde ensalawo y’omulamuzi okumukkiriza okugenda e Kasese aziike mu maama we, era ne yeebaza abantu bonna abamuyambye nsaba Katonda okuwa nnyina ekiwummulo ekyemirembe.
Nnyina wa Mumbere yafa ku lw’okubiri ku makya mu ddwaliro lya Kirembe Mines Hospital ku myaka 85 era nga ajja kuziikibwa wiik ejja ku lw’okubiri.
Ono era ye nnyina wa Minisita omubeezi ow’ebyobulimi Christopher Kibazanga.
Kinajjukirwa nti Mumbere yali yagaanibwa okufuluma Kampala ne Wakiso, nga obuzibu bwava kukuba nti akyalina emisango gy’avunanibwa egy’obutemu bwe yali nga akyali Omusinga wa Rwenziruru
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com