OMUBAKA wa massekkati ga Kampala Muhamad Nsereko asambazze ebigambibwa nti yakyalako mu maka ga mubaka munne Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) agasangibwa e Magere, bwe yali atumiddwayo Pulezidenti Museveni ayogere naye ku nsonga z’okwesimbawo, nagamba nti bino ssi bituufu kubanga tagendangayo kko era tasuubira kugendayo kubanga talina kyamwetaaza.
Omwezi oguwedde emikutu gy’amawulire naddala egy’emitimbagano gyalaga nga omubaka Nsereko bwe yeetaba mu kafubo akamu mu maka ga Bobi Wine ku biragiro bya Pulezidenti nga yali amusabye amutuukirire amutegeeze aleme okwesimbawo mu mwaka gwa 2021, kino mbu kimuwe omwagaanya gw’okwesimbawo mu 2026 kubanga Pulezidenti talowooza ku kyakuddamu kwesimbawo.
Abawandiika bino bagamba nti amangu ddala nga Nsereko amaze okwanjula amawulire agaali gamutumiddwa omukulu Kyagulanyi yamulagira afulume amakaage kubanga yali si mwetegefu kukkiriza byali bimugambiddwa.
Naye Nsereko byonna bino abisambazze nagamba talinnyangako mu maka ga Bobi Wine era tasuubira kugendayo yadde mu biseera by’omumaaso kubanga talina kyamwetaaza, yadde eky’okwogerako naye kakibe kya byabufuzi.
“Njagala muganda wange Kyagulanyi aveeyo ategeeze ensi mu butongole nti nze sigendangako wuwe kuba akimanyi, era mutegeeza nti bino bye byaleetawo ekitta bantu mu Rwanda ne Germany eby’obulimba oba engambo ezikolebwa ku bantu ezitalina bukakafu” Nsereko bwe yagambye.
Yanyonyodde nti Kyagulanyi alina obuvunanyizibwa okuvaayo ategeeze abantu ebikyamu ebili emabega w’olugambo luno, kubanga amanyi ekituufu.
Omwogezi we kisinde kya People Power Joel Senyonyi bwabadde ayanukula ku nsonga eno agambye nti tebalina budde kwogera ku buli kintu kye baba bawulidde oba eky’ogeddwako, nagamba nti kati bali mu kutunulira bintu bikulu byokka.
Nsereko era yagenze mu maaso nateeka ku mukutu ogwa Face Book emboozi ne bigambo bye bayogera ne Kyagulanyi, ebyalaze nti yamusaba aveeyo ayanukule ku bigambo bye yayita eby’olugambo ebitaliiko mutwe na magulu, kyokka Kyagulanyi naamuddamu nti ebyo byonna bigenderera kubawukanya era naamusaba batambulire wamu bave mu ngambo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com