ABABAKA ba Palimenti bavuddeyo ne beelwanako nga byayogeddwa abayambi baabwe bwe baabadde basisinkanye Omukubiriza w’olukiiko lwe Ggwanga olukulu Rebecca Kadaga nti bakama baabwe babakaka omukwano nga bwe bagaana basalawo kubagoba nga tebasasuddwa.
Bano ababadde bagenze okukulisaayo Kadaga mu bulwadde obwamutulugunya gye buvuddeko baategezezza nti bakama baabwe basusse okubatulugunya, nga n’olumu babakaka omukwano mu zi Offiisi zaabwe nga bwe babagaana basalawo kubagoba nga n’okusasula tebasasudde.
Baagambye nti ababaka babasasula obusente butono nga kwotadde n’okubalwisaawo ebbanga eddene nga tebasasuddwa kye baagambye nti kino olumu kiva ku kukuba nti, baba baagala basooke bafuuke bakyala baabwe, songa ekyabaleeta ku Palimenti kukola sso ssi kufumbirwa babaka.
“Maama Kadaga naawe oli mukazi tuyambe ku basajja bano basusse okututulugunya kyokka abamu tuli na bafumbo ate nga nabo bakimanyi, kale tusaba otuyambe batuleke tukole emirimu era batusasulenga ensimbi zaffe mu budde kubanga naffe tulina ebyetaago eby’enjawulo” Bwe bategezezza.
Mu kwanukula Omubaka we Bunyole West James Waluswaka yagambye nti abawala bano nabo olumu baletera ababaka obuzibu kubanga bayitirira okwambala obubi nga balinga abajja ku Palimenti okufuna abasajja, kyokka nagamba nti eky’okubatulugunya nga okubakaka omukwano takiwagira era nabasaba boogere abo abakikola babonerezebwe.
Ye omubaka we Kalungu West Joseph Sewungu Gonzaga yagambye nti yeewunya babaka banne abalina abayambi abangi mu zi offisi zaabwe, kye yagambye nti tamanyi butya bwe babasasula, nga n’olumu abayambi abo bagenda mu maaso ne basabiriza ababaka abalala ensimbi abatabawanga ku mirimu.
“Neewunya babaka banange, baagenda ne basomboola abawala okuva eyo ewabwe naye nze mu kulaba okwange baaleeta bakazi baabwe nga beefudde abayambi mu zi offiisi, bwe baba tebasobola kubasasula babagobe okusinga okutwononera amanya gaffe nga ababaka” Sewungu bwe yagambye.
Mu Ggwanga Uganda abakozi bangi batulugunyizibwa wakati mu kukola emirimu gyabwe naye nga kati kisusse nnyo mu zi offiisi za Gavumenti.
Okubakaka omukwano kigenze wala, obutabasaula, okulwisaawo emisaala gyabwe mu bugenderevu, okubavuna n’abamu okubakuba.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com