ABANTU abakolera ku nsala ya Uganda ne Rwanda e Katuna bafunye ku ssanyu oluvanyuma lwa Gavumenti ye Rwanda okuggulawo ensalo ezibadde zasibibwa gye buvuddeko.
Mu kiseera kino emmotoka ezitambuza eby’amaguzi okubiyingiza Uganda ne Rwanda zitambula kinawadda era ne gimu ku mirimu egibadde gyayimirizibwa Gavumenti ye Rwanda omuli n’abasolooza emisolo bakomyewo ku nguudo nga bwe kyali.
Okusinziira ku bbaluwa eyawandikiddwa ekitongole kya Rwanda ekikola ogw’okusolooza emisolo ki (RRA) Rwanda Revenue Authority nga 07.06.2019 kyalaze nti ensalo zaabadde zakuggulwawo leero nga 10. 06.2019 okutuusa nga 22, 06 ,2019 okusobozesa ebimotoka ebinene okusala ensalo.
bano bagamba nti kino kikoleddwa okusobozesa omulimu gw’okukola oluguudo olugenda ku nsalo e Katuna saako n’okuwa omwagaanya abakola oluguudo oluguudo olwo basobole okutambuza obulungi emirimu gyabwe.
Abatuuze abakolera ku nsalo emirimu bategezezza nti bagenda kufuna ku buwerero kubanga gye buvuddeko ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo okugeza nga Ssukaali, ssabbuuni ne bilala bibadde ku buseere olw’okuggalawo kye bagamba nti kyasanyalaza ebyenfuna byabwe.
Wabula abamu balaze okutya kubanga Gavumenti ye Rwanda ensalo ezigguddewo akaseera katono, kye bagamba nti tekyesigika kubanga ate bayinza okuggalawo ssawa yonna nga ennaku ze bawadde ziweddeko.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com