OLUNAKU lw’omukaaga enkuba yatonye mu kibuga kye Mukono era negoya ebitundu eby’awezeeko, era emigga egirinaanye ekibuga gyonna ne gijjula ekyaleesewo obwelalikirivu eri abatuuze.
Ekimu ku bitundu eby’asinze okukosebwa kwabaddeko ekya Kame LC 1 ekisangibwa ku luguudo oluva e Mukono okudda e Katosi nga wano abavubuka bakolerawo omulimu gw’okwooza emmotoka, baakiguddeko emmotoka z’ebabadde booza okwennyika zonna mu mazzi ne zibulirayo era nga kyatwalidde Poliisi essaawa eziwerako okuzisikayo.
Ekitundu kya Kame mulimu omwala era nga guno guviira ddala ku kyalo Nabuti, ne guyita e Lweza nga kwotande ebyalo abilala bingi.
Abatuuze bagamba nti eno yonna gye guyita abantu abaagulayo bwe baba bazimba bayiwa ettaka mu nsulo zaagwo, nga zino mu biseera eby’omusana ziba ntono nnyo, wabula enkuba bwe tonnya amazzi gaba mangi nga tegalina we galaga ekivaako guwagulula ne ganjaala mu mayumba gaabwe.
Meeya we Mukono George Fred Kagimu agamba nti yadde nga abakulembeze bagezezaako okusomesa abantu baabwe okuzimba nga abakozesa zi pulaani ezikakasiddwa Munisipaari, naye era bava ku mulamwa ne bamala gazimba kyagamba nti kye kimu ku bivuddeko embeera y’amazzi okwongera okwanjaala mu mayumba mu bideera bye nkuba.
Gye buvuddeko omugga guno gwatta abaana 2 abaali bava ku ssomero ku kyalo Lweza nga entabwe yava ku kuba nti enkuba bwe tonnya amazzi gaba mangi olwo ne gawagulula ate nga gaba ku misinde gy’amaanyi nga omuntu atazitowa bwagayitamu gayinza okumutwala.
Abatuuze basabye ekitongole kye nguudo ekya Munisipaari okuvaayo okukola omulimu gw’okutindira omugga guno yonna gye guyita basobole okufuna ku buwerero mu biseera bye nkuba.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com