PULEZIDENTI Yoweri Kaguta Museveni ajjukizza abali ku ludda oluvuganya nti naye yaliyo kko era yakolerayo emirimu, naye nagamba nti bano abaliwo kati buli kimu bawakanya kiwakanye kye yagambye nti tekiyamba kutwala Ggwanga mu maaso.
“Nze gwe mulaba naliko mu DP era ne mu UPC ne mbeerayo akaseera katono, era ekiseera ekyo twakola ebintu bingi omwali n’okulwanyisa obwavu mu bantu naye munange abali ku ludda oluvuganya mu Uganda tebafaayo yadde” Museveni bwe yagambye.
Okwogera bino Museveni yabadde ayogera ku mbeera eriwo mu ggwanga ku mikolo gy’okuggulawo olutuula lwa palamenti ey’ekkumi ey’omwaka ogw’okuna. Museveni yayogedde ku nsonga nnyingi eziraga eggwanga nga bwerisenvudde mu by’enfuna kyokka n’agamba nti bannabyabufuzi abamu n’abali b’enguzi be bafuuse omuziziko gw’enkulakualana.
Museveni era yasabye abakulembeze okuba abeetowaze basobole okutegeera obulungi ebizibu by’abantu baabwe mu kifo ky’okwetwalira waggulu, kye yayogeddeko nga amalala agatalina kye gagenda kuyamba bantu ba wansi kwekulakulanya.
Yayogedde ku nkulakulana etuuseewo mu byenjigiriza wano naawa eby’okulabirako ebiwerako ebiraga nti eggwanga ligenda maaso n’agamba ebibiina bya pulayimale ebizimbe ebirungi mu masomero ga gavumenti biri 102,577 kyokka nga NRM weyajjira mu buyinza byali 28,000 byokka.
Omugatte gw’abaana abasomera mu masomero ga gavumenti mu pulayimale bali bukadde musanvu ng’agobwanannyini balinga akakadde kamu, kye yagambye nti kivudde ku mbeera y’amasomero ga Gavumenti okulongooka.
Yazzeemu okugumya bannaUganda ku mbeera ye byokwerinda n’agamba nti eggwanga okuyita obulungi mu kulamaga kw’e Namugongo okumala emyaka nga tewali buzibu buguddewo kitegeeza nti poliisi n’amagye bikola bulungi emirimu era naasuubiza okwongera ku bukugu bwa bakuuma ddembe.
Era yayogedde ku bambuzi abajja wano abeeyongedde, ebyobulamu bitumbuddwa, enguudo ne bilala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com