OMULABIRIZI wa West Buganda Rt. Rev. Henry Katumba Tamale alabudde abavubuka mu Ggwanga okukomya omuze gw’obwanamunafu, gwagambye nti guvuddeko bangi kubo okwononeka abalala ne bafuuka ekitagasa mu Nsi.
Bp. Katumba agamba nti yewunya abavubuka kubanga Katonda abawadde amaanyi ge basobola okukozesa okukola emirimu egyenjawulo beekulakulanye, nti kyokka abangi basiiba mu matatu, beetingi, okunywa enjaga n’okubba n’olumu ne battibwa saako okusibwa mu makomera olwo eggwanga ne libafiirwa.
Okwogera bino yabadde mu mboozi eyakafubo ne WatchDog Uganda ekwata ku mbeera abavubuka gye balimu mu ggwanga naddala nga be batunuliddwa okubeera mu bifo eby’obuvunanyizibwa gye bujja.
Yanyonyodde nti obuzibu obusinga okuvaako abavubuka okwononeka buva ku bazadde kubanga nabo benyini balina omulimu munene wakati mu kukuza abaana, nti kyokka omulimu guno bangi balabika bagusuulirira ne basalawo kugulekera basomesa kyagamba nti nabo olumu obuvunanyizibwa buba bungi.
“Abavubuka mwe Katonda abawadde emibiri emiramu obulungi saako n’amaanyi kale mbasaba mubikozese musobole okwekulakulanya, bwe kuba kulima mulime, bwe kuba kukuba bbulooka muzikube ne bilala, naye nga empisa kye kisinga obukulu kubanga teri muntu alituuka ku ddaala lya waggulu nga talina mpisa ekyo nkibagamba” Bp. Katumba bwe yagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com